Katikkiro avumiridde abakola effujjo mu kalulu

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde effujjo n’okugaba sente ebyetobese mu kamyufu ka NRM.

Abavubuka ba JEEMA batwalidde Katikkiro oluwalo
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde effujjo n’okugaba sente ebyetobese mu kamyufu ka NRM.

Agamba nti emize gino kabonero kabi ku nkulaakulana ya demokulasiya mu Uganda n’asaba akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga okufuba okulaba ng’ebyabadde mu kulonda kwa NRM, tebyeyolekera mu kulonda okwawamu.

Mayiga okwogera bino yasinzidde mu nsisinkano n’abavubuka ba JEEMA e Bulange nga baakulembeddwamu Ssaabawandiisi w’ekibiina kino mu ggwanga, Mohammad Kateregga
n’abasoomooza okubeerako n’ebigendererwa lwaki baayingira ebyobufuzi ng’ekikulu kwe kutereeza obukulembeze