Bannalotale beeyamye okuyamba omwana ow'obulenzi
Jun 26, 2024
MUKAWEEFUBE w’okutema empenda okulaba ng’omwana omulenzi tasigala mabega mu by’enkulaakulana, Bannalotale beeyamye okudduukirira omulanga gw’abazadde okutuuka ku ddaala erisiddwaako omwana omuwala.
By Ssuuna Peter
Journalist @New Vision
MUKAWEEFUBE w’okutema empenda okulaba ng’omwana omulenzi tasigala mabega mu by’enkulaakulana, Bannalotale beeyamye okudduukirira omulanga gw’abazadde okutuuka ku ddaala erisiddwaako omwana omuwala.
Gavana wa Lotale Disitulikiti 9213 Edward Kakembo Nsubuga, bw’abadde ku Wooteeri ya Ivys e Wakaliga nga beekubamu ttooci mu nkola yaabwe ey’emirimu ng’ekibiina, yategeezezza nti kati essira baakuliteeka ku kutumbula enteekateeka y’omwana omulenzi okulaba nga naye tasigalira.
Yategeezezza nti baali balowooza abakyala banaabasimbira ekkuuli n’ekirowoozo kino naye ate bakiwagidde nga bagamba abaana abalenzi baddiridde nnyo, tebalina mirimu beetaga okukwasizaako.
Yannyonnyodde nti kino kyabawadde amaanyi okutwala enteekateeka eno mu maaso kuba kati ne Gavumenti yavuddeyo okutema empenda okulaba nga babakwasizaako okuyamba omwana omulenzi.
Yasabye abazadde okwongera amaanyi mu kutendeka abaana bonna awamu awatali kusosola kikula kyabwe ate n’okubasomesa.
Gavana wa Lotale Disitulikiti 9214 Francisco Ssemwanga, yasabye abazadde obutalekerera mwana muwala kuba nti abakazi batadde eddaala ddene ku nkulaakulana y’e Ggwanga
No Comment