Amawulire

Eyazaala abalongo ku myaka 70 ayaniriziddwa nga muzira

NNAALONGO Safinah Namukwaya eyazaala abalongo ku myaka 70 ayaniriziddwa nga muzira e Kalungu, abatuuze ne bamutendereza.

Ssaalongo Walusimbi ne Nnaalongo Namukwaya n’ezzadde lyabwe
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

NNAALONGO Safinah Namukwaya eyazaala abalongo ku myaka 70 ayaniriziddwa nga muzira e Kalungu, abatuuze ne bamutendereza.
Namukwaya eyazaala abalongo mu November 2023, yazzeeyo mu maka ge ku kyalo Nunda B. mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu abatuuze ne bba Ssaalongo Badru Walusimbi ne bamwaniriza mu bitiibwa.
Yawerekeddwaako abasawo ba Women's Hospital International and Fertility Centre e Bukoto mu Kampala gye yazaalira, ng'eno amazeeyo emyezi musanvu nga bakyatereeza embeera y'obulamu bwe wamu n'abaana.
Nnaalongo Namukwaya yannyonnyodde nti, yatandika okunoonya ezzadde ku myaka 17 nga yaakafumbirwa, kyokka omwana n’abula ekyabawaliriza n'okugenda ku ndagu.
Yeekokkola omusawo w'ekinnansi eyalimba bba nti, awaka waaliwo omwana ataali wuwe omukyala gwe yazaala ebbali, nga baalina kusooka kumuwa kitaawe omutuufu, balyoke baddemu okufuna ezzadde.
“Baze yava mu mbeera ne ssente ze yali atadde mu kibbo ky’omusamize oyo, n’aziggyamu ne tufuluma essabo lye,” Namukwaya bw’atenda.
Yagambye nti, okuva olwo baasalawo ne bava ku by'okweraguza ne batandika okugenda mu malwaliro ag’ekizungu, naye ng’olumu atera n’akaaba n’amaziga olw'abantu abamu abaamulangiranga obugumba entakera.
Yayongeddeko nti, oluvannyuma nga n’essuubi litandise okumuggwaamu olw’emyaka egyali gigenderedde, baamulagirira ewa Dr. Ssali eyamusobozesa okufuna olubuto n’azaala omwana we Sarah Aisha Nanteza eyasooka, kati awezezza emyaka ena.
Ayongerako nti, bwe yaddayo ewa Dr. Ssali okwebaza kwe kumuteekamu ekirowoozo ky’okuddamu okuzaala era n’amukolako okukkakkana ng’azzeemu n’afuna olubuto lw’abalongo Kato ne Babirye n’abazaala ku myaka 70.
Wabula agamba nti, kati tagenda kuddamu kuzaala kubanga omubiri gunafuye ng’ate yeetaaga okuwangaala asobole okukuza abaana bano obulungi.
Ssaalongo Badru Walusimbi, ow’emyaka 69 yategeezezza nti, kuva dda entegeeregana gy’alina ne mukyala we ono nga bagasseeko okwesiga Katonda bye bibayambye okuyita mu kusoomoozebwa kw’okunoonya ezzadde okutuusa lwe bafunye obuwanguzi.
Arthur Matsiko, omwogezi w’eddwaaliro lino yategeezezza nti, baasalawo abaana bano ne nnyaabwe basooke bafune obujjanjabi obumala nga y’ensonga lwaki bamaze naye ebbanga eriwera.
Omusawo John Ssekyanzi yannyonnyodde nti, engeri abaana bano gye baggyibwa mu lubuto lwa nnyaabwe nga tebatuuse babadde balina okulabirirwa n’obwegendereza ekitaalibadde kyangu nga bali mu kyalo.
Deborah Kyomugaso ow’abaana yayongeddeko nti, Nnaalongo bamusomesezza bulungi ku ngeri entuufu ey’okulabirira ezzadde lye, n'agamba nti, kyokka waakuyambibwako ab’awaka abalala okusinziira ku myaka.
Ssentebe w’ekyalo kino, Yasin Ssettumba yagambye nti, Nnaalongo ne Ssaalongo babayigiddeko okubeera abagumiikiriza n’asaba abatuuze okubalabirako basobole okwewala obutabanguko mu maka