NORTH Korea erangiridde nga bw’emalirizza enteekateeka ez’okutwala amagye mu Ukraine okuyambako ku Russia mu lutalo.
Wabula America erabudde North Korea ku kabi k’eyolekedde okweyingiza mu lutalo lwa Ukraine lw’eterinaako kakwate.
Bino biddiridde Pulezidenti Vladimir Putin owa Russia okukyalira Kim Jong Un
mu kibuga Pyongyang ekya North Korea wakati mu kuwakanyizibwa Abazungu abaateeka nnatti ku ggwanga eryo olw’okuweesa n’okugezesa ebyokulwanyisa eby’amaanyi, yakkaanyizza ne Kim buli omu awe munne emmundu ezimumala okumaliriza entalo z’alimu nga wano we bakkaanyirizza Kim ayambe Putin mu Ukraine.
Amawulire ga Reuters gaategeezezza gye buvuddeko nti, amagye Kim ge yapangisizza Russia, gagenda kulumba mu Ukraine ku ntandikwa y’omwezi guno era galabika gali mu kkubo oba gaatuuse dda gakekeza nnyago.
Ekitebe ky’eggye lya America ekya Pentagon kigamba nti, amagye ga North Korea gali bulindaala okwesogga Ukraine gakube emmundu kyokka omwogezi waakyo, Gen. Pat Ryder yalabudde nti, Putin abeera agenda kugakozesa kye yayise ‘Cannon fodder’ ekitegeeza abantu be basindika ku fulonti okusookayo nga ne bwe babatta mu kirindi abasindise tafaayo, n’ategeeza nti, olutalo lwe bagasindikamu lumenya mateeka ate era kimanyiddwa ng’amagye ga Russia galufiiriddemu nnyo.
Waliwo lipooti era eyafulumidde mu mawulire ga Politico mu America nti, Kim agenda kusindika n’amagye agagenda okuzimba ebibuga Russia bye yawamba ku Ukraine kyokka nga bikubiddwa nnyo.
Amawulire ga Reuters ne Chosun Television Channel eya South Korea gaagasseeko nti, okwo nakwo kwali kukkaanya kwa Kim ne Putin, olw’obwavu obungi mu North Korea obwasinga okuva ku nnatti z’ebyobusuubuzi ezaagissibwako Abazungu, efune ku ssente.
America mu kadde ke kamu yasindise emmeeri enneetissi y’ennyonyi eya USS Theodore Roosevelt eyeegasse mu kwegezaamu n’amagye g’oku mazzi aga South Korea ne Japan nga kulinga okulaga nti, bali bulindaala okwahhanga Kim ne Putin abalabika ng’abasse omukago okuwakula olutalo ku mawanga agakolagana ne America kitundu ekyo ate nga tegakolagana na North Korea.
Amawanga ago kuliko South Korea ne Japan.