Minisita w'Abavubuka n'abaana Balaam asabye bannabyabufuzi okukomya okuwa abalonzi ssente

MINISITA w’abavubuka n’abaana Balaam Barugahara asabye bannabyabufuzi bakomye okuwa abalonzi ssente z’obwereere kuba kisobola okulemaza abantu ne bava ku kwekolerera nga basuubira bya bwereere.  

Minisita Balaam ng'annyonnyola
By Kizito Musoke
Journalists @New Vision
MINISITA w’abavubuka n’abaana Balaam Barugahara asabye bannabyabufuzi bakomye okuwa abalonzi ssente z’obwereere kuba kisobola okulemaza abantu ne bava ku kwekolerera nga basuubira bya bwereere.
Yagambye nti omukulembeze agasa abantu ateekeddwa okutema empenda ezibakulaakulanya ng’okubatandikirawo emirimu. Enkola y’abalonzi okulaba abakulembeze mu nkola ya ndabakuki yagambye nti nkyamu.
Balaam ng'agabula abantu

Balaam ng'agabula abantu

Balaam yabyogedde aggalawo omusomo gw’ebyenfuna ogwamaze wiiki nnamba ku Kinoni Grounds e Rwampara ogwategekeddwa omubak w’ekitundu, Amos Kankunda.
Kankunda yalaze obukulu bw’okusomesa abantu enzirukanya ya bizinensi naddala ezeesigamye ku by’obulimi n’obulunzi. Akulira Enterprise Uganda, Charles Ocici yategeezeezza nti ekitongole kiri ku kaweefube okulaba nti babangula abantu ku kutandikawo n’enzirukanya ya bizineesi mu ngeri ezisobozesa okukola amagoba