Ebya paasita omukazi gwalumiriza okumuzaalamu abaana n’abeegaana biranze. Ono nga olwaleero lwe babadde balina okudda mu musaayi okukakasa obuzaala bw’abaana aboogerwako yeetemye engalike ekirese omukyala mu kusoberwa. Asabye bekikwatako okukaka omusumba ono baleme okukuumira abaana mu bulumi.