Amawulire

Agambibwa okukubira abawala ng'abasuubizza emirimu n'abba amasimu gaabwe akwatiddwa

POLIISI ekutte omusajja agambibwa okukubira abawala amasimu n'abasisinkanira mu birabo by'émmere n'ababbako amasimu gaabwe.

Agambibwa okukubira abawala ng'abasuubizza emirimu n'abba amasimu gaabwe akwatiddwa
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

POLIISI ekutte omusajja agambibwa okukubira abawala amasimu n'abasisinkanira mu birabo by'émmere n'ababbako amasimu gaabwe.

Ronnie Kyeswa, oluusi nga yeeyita Paul Lwanga ye yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw'ábamu ku bawala be yakubiranga essimu ng'ábasuubizza okubafunira emirimu okumuloopa 

 

Bano abaddenga abasisinkangaa mu birabo by'emmere kyokka n'abalekawo n'abulawo námasimu gaabwe. Amyuka Omwogezi wa poliisi mu Kampala némiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti abaserikale ku poliisi ya Mini Price baafuna okwemulugunya okuva ku bawala abénjawulo nga balumiriza omusajja abasisinkana mu birawo byémmere ng'abasuubiza okubafunira emirimu kyokka n'abatwalako amasimu gaabwe.

Yagambye nti abaserikale ku poliisi ya Mini Price oluvannyuma lwókubasiigira ekifaananyi kyómusajja baasazeewo okumunoonya n'akwatibwa ne kizuulibwa nga alina ffayiro 3 ezaamuggulwako  ku by'ókubba amasimu.

Yategeezezza nti Kyeswa azze akwatibwa enfunda eziwera ku misango gye gimu n'atwalibwa mu kkooti n'avunaanibwa wabula bwe yayimbulwa ate n'addamu okubba essimu ku bawala era yasembayo okukwatibwa mu January wa 2024.

Yagambye nti okusisinka abawala b'abba, abakubira ssimu n'abagamba nti asobola okubafunira emirimu era n'abayita bamusisinkane nga gw'asisinkanye amutuuza mu kirabo kyémmere era n'atumya ebyókulya n'abaako gw'akubira ssimu kyokka yeefuula nti eyiye eweddeko omuliro n'asaba omuwala amuwe eyiye abeeko gw'ayogera naye nga bw'agenda takomawo.

Ezimu ku ffayiro zémisango ezaggulwa ku Kyeswa kuliko SD 21/12/02/2024, SD 18/03/05/2024 ne SD 15/21/07/2024

Tags:
Amawulire
Mirimu
Bawala