Bamasinale ba Iran bakubye Yisirayiri

BAMASINALE ba Iran bakubye Yisirayiri mu kibuga Tel Aviv okuliraana ekitebe kya America, Katikkiro waayo n’addukira ewa Joe Biden okusaba emmundu empya.

Enfo eyakubiddwa ng’etuntumuka omuliro.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BAMASINALE ba Iran bakubye Yisirayiri mu kibuga Tel Aviv okuliraana ekitebe kya America, Katikkiro waayo n’addukira ewa Joe Biden okusaba emmundu empya.
Olutalo lwatandise ku wiikendi, abayeekera ba Houthi mu Yemen bwe baakozesezza ennyonyi za drone ezeevuga zokka ne zituuka mu Tel Aviv ne zisesebbula enfo mwe zattidde abantu n’okulumya abalala.
Amawulire ga Sky News e Bungereza gagamba nti, abaakubiddwa baabadde kumpi ddala n’ekitebe kya America mu kibuga Tel Aviv ekirabika nga kye baabadde bagenderedde.
Oluvannyuma ennyonyi za Houthi endala zaatandise okulumba obwengula bwa Tel Aviv okukuba tageti ez’enjawulo.
Eggye lya Yisirayiri erya Israel Defense Forces (IDF) lye baasoose okukwata obujega nga teritegedde, lyanyize eppeesa ebikompola bya Iron Dome ne bitandika okubaka ezimu ku nnyonyi za drone ez’aba Houthi nga bwe zitulikira mu bwengula bw’ekibuga abantu ne babuna emiwabo.
Mu kiseera kyekimu, abakambwe ba Hezbollah nga nabo bawagirwa Iran, baasinzidde mu Lebanon ne bakuba Yisirayiri ku kabuga Abirim okusinziira ku mawulire ga The New Arab nga bakozesa ebikompola ebyabadde biyiika ng’enkuba.
Ku ludda olumu aba IDF baabadde balwana kubaka nnyonyi za Houthi, ku lulala nga balwana kubaka bikompola bya Hezbollah.
YISIRAYIRI YEESASUZZA
Mu kiro ekyakeesezza Ssande, Yisirayiri yeesasuzza bwe yasumululidde bamasinale abo emmundu n’ebakuba basatu omulundi gumu nga ku Houthi ne Hezbollah yagasseeko ne Hamas owolulango mu Gaza bonna n’ebattamu abantu 70.
Yasitudde mizayiro enzito ze yatisse ku nnyonyi enkola ya America ekika kya F-35 n’ekuba ebibuga by’abayeekera ba Houthi mu Yemen nga yasookedde ku Hodeidah gye yakubidde essengejjero ly’amafuta ne gatuntumuka omuliro nga na kati omukka gukyanyooka.
Yakubye enkambi, ebbibiro ly’amasannyalaze n’enfo z’abayeekera abo gye yasse abantu mukaaga.
Ku ba Hezbollah, yasaanyizzaawo emu ku dipo z’emmundu zaabwe ezikubyeko emmundu Iran z’ebawa.
Ate mu Gaza, yasseeyo aba Hamas 64.
KATIKKIRO WA YISIRAYIRI
ADDUKIDDE MU AMERICA
Ng’olutalo lukkakkanyeemu ku makya ga leero, Katikkiro wa Yirirayiri Benjamin Netanyahu agenda mu America okusisinkana Pulezidenti Joe Biden eyasiba ssente obuwumbi 14 ezaalina okuweebwa IDF okugula emmundu okwekuuma bamasinale abo ne Iran.
Ssente ezo zaayisibwa ku nkomerero ya April olukiiko lwa Senate omulundi gumu n’eza Ukraineobuwumbi 61 okulwanyisa Russia, wabula eza Yisirayiri ne zissibwako envumbo olw’okulemera ku ky’okukuba enkambi y’e Rafah mu Gaza awali ababundabunda abasukka mu kakadde akamu n’ekitundu.
Netanyahu ayagala emmundu
akole ku mawanga nga Iran agongedde okugikuba ne bamasinale baayo naddala Houthi abakuba emmeeri z’abazungu mu liyanja lya Red Sea nga beesasuza olwa Yisirayiri okulumba Hamas mu October w’omwaka oguwedde

Trump ‘ayisizza eggaali’ mu Biden, Kamala Harris n’eyali sipiika Nancy Pelosi 

Netanyahu w’agendedde mu America okusaba emmundu ng’akalulu k’Obwapulezidenti wa Amerika kakaaye. Donald Trump, 78 avuganyiza ku kkaadi ya Republican mu kiseera kino ali ku mbiranye ne Joe Biden 81, era yamusiyizzaamu eggaali. Yamulangidde obukoowu, okulwalalwala, obunafu ate nga teyeesobola.
Trump eyabadde mu ssaza ly’e Michigan ku Lwomukaaga, teyakomye ku Biden yazinzeeko n’omumyuka we, Kamala Harris gwe yagambye nti abeera mu kuseka busesi.
Olwo yabadde amwogerako nti, aba DP gwe baagala okuwa kkaadi y’ekibiina avuganye ku Bwapulezidenti olw’okuba Biden takyasobola.
Yagasseemu ne munna DP eyali sipiika wa Palamenti ya Amerika, Nancy Pelosi gwe yayogeddeko ng’akyasinze okuperereza Biden ave mu lwokaano nti ate gw’asaba aluveemu, tamuwa kitiibwa amugamba mu ngeri ya kumunyooma