POLIISI e Nsangi egenda mu maaso n'okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ne mufiiramu abantu babiri mu masanganzira g'e Buddo , e Nakasozi Cell mu Kyengera Town Council.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiraano, Luke Owoyesigyire agambye nti abaafudde omu yategeerekese nga Evelyne Nalumansi Zaliya Kironde Katende, 50, omutuuze w'e Mpangala Cell, e Kyengera Town Council mu disitulikiti y’e Wakiso n'omusajja omulala atannategeerekeka eyabadde mu byambalo ebyefaananyiriza eby'ekijaasi.

Mmotoka eyabaddemu gwe balumiriza okuwamba eyabadde mu byambalo ebyefaananyiriza eby'amagye.
Ettemu lino lyabaddewo eggulo ku ssaawa nga 2:00 ez'ekiro okusinziira ku Owoyesigyire, era ng'agambibwa okwenyigira mu ttemu lino, akwatiddwa.
Owoyesigyire annyonnyodde nti okusinziira ku yakwatiddwa, omusajja eyattiddwa yabadde amuwambye ng'ali n'abooluganda lwe okuva e Buwama ne babavuga nga baboolekeza e Kibuga.

Omugenzi eyabadde mu byambalo ebyefaananyiriza eby'amagye.
Nti baabadde babatambuliza mu mmotoka Toyota Progress number UAK 375U, nti bwe baatuuse e Buddo, omusibe agamba nti yasobodde okufumbiikirizaako omu ku baamuwambye n'amuggyako pisito n'akubako omu amasasi agatwaliddwemu n'omukazi eyabadde atambula agage ne bafiirawo.
Owoyesigyire, agasseeko nti emirambo gyombi gitwaliddwa mu ggwanika e Mulago okujeekebejja era nga n'emmundu pisito egambibwa okweyambisibwa mu ttemu lino, ezuuliddwa ng'okubuuliriza bwe kukolebwa.