Amawulire

Aba Wikipedia bajaguzza emyaka 10 nga batumbula ennimi mu Uganda

Ng’asinziira ku kabaga akaabadde ku Nawab Restaurant e Bugolobi, akulira ekibiina kino mu Uganda, Omulangira Geoffrey Kateregga yategeezezza nti baatandika mu 2014

Aba Wikipedia bajaguzza emyaka 10 nga batumbula ennimi mu Uganda
By: Wilson Williams, Journalists @New Vision

EKIBIINA ky’obwannakyewa ekya Wikimedia Community User Group Uganda, ekitumbula ennimi ennansi omuli n’Oluganda nga kizikolera ebiwandiiko ebitali bya kusasulira ku mutimbagano kijaguzza emyaka 10 mu Uganda.

Abamu ku banakibiina Kya Wikipedia Mu Uganda

Abamu ku banakibiina Kya Wikipedia Mu Uganda

Ng’asinziira ku kabaga akaabadde ku Nawab Restaurant e Bugolobi, akulira ekibiina kino mu Uganda, Omulangira Geoffrey Kateregga yategeezezza nti baatandika mu 2014 nga bawandiika ebiwandiiko ku bantu, ebitongole n’ebintu byonna ebikwata ku Uganda, ng’omuntu asobola okubisomera ku bwereere ssinga abikebera ku mutimbagano ku kibanja kya Wikipedia.

“Kyokka bwe twayongera okuwera, twatandikawo ne Wikipedia y’Oluganda, ng’eno ezze ewandiika ku bintu ebyaffe ebya wano mu Luganda, era nabyo kwebiri ku mutimbagano mu lulimi lwe tumanyi nti lwogerwa abantu abasoba mu bukadde obusoba mu mukaaga (6).” Kateregga bwe yagambye.

Kateregga

Kateregga

Yagambye nti ebimu ku bikyabasoomooza bye biwandiiko bye balina okujulizaako (References) nga bawandiika ku bintu bya Uganda nga babeera beetaaga ebyo ebyawandiikibwanga mu mpapula z’amawulire olwo babijulizeeko nga bakola ebiwandiiko bya Wikipedia.

Ekirala kwe kuba nti omulimu guno bagukolera ku kkompyuta naye amasomero mangi ge bagenda okutendeka tegalina kkompyuta ate n’abasomesa bangi bakaluubirirwa okuzikozesa nga baba balina okumala okubatendekera ebbanga.

Erina Mukuta Muhame, omu ku batandisi b’ekibiina kino mu Uganda yayanjulidde bammemba enteekateeka y’ekibiina ey’emyaka etaano egiddako gye yagambye nti yaakubalung’amya mu byonna bye banaakola mu bbanga lino. Muno mulimu ne ppulaani ey’okukozesa ebiwandiiko bya Wikipedia mu kusoma.

Bano bakola ne pulojekiti endala nga ez’okukuba ebifaananyi by’ebifo by’ebyafaayo mu Uganda ne babiteeka ku mutimbagano ng’omuntu yenna asobola okubyeyambisa okutumbula Uganda awatali kubisasulira era balina pulaani n’okutumbula ennimi za Uganda endala ennansi.

Tags:
Wikipedia
Wikimedia
Bugolobi