Amawulire

Ekibabu mu Iran;Yisirayi ekubye ddipo z’amafuta;Amerika ereese ennyonyi ez’omutawaana 2

AMERICA ereese mu ddwaaniro ennyonyi endala bbiri kabikabi, ng’emu etikka bbomu ezizitowa kiro 31,000, endala amaanyi gaayo ne ssaayansi, oyinza okugayita aga nnamuzisa.

ENNYONYI PLANEENNYONYI DOOMDAY PLANE
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

AMERICA ereese mu ddwaaniro ennyonyi endala bbiri kabikabi, ng’emu etikka bbomu ezizitowa kiro 31,000, endala amaanyi gaayo ne ssaayansi, oyinza okugayita aga nnamuzisa.
Ennyonyi ezo okutuuka, nga Yisirayiri erimu ku mawanga agali mu lutalo lwa Iran, eyokezza amafuta g’eggwanga eryo ne gatuntumuka abaawawamuse mu kiro nga gaaka, ne balowooza nti obudde bwabadde bukedde olw’ekitangaala ky’omuliro eky’amaanyi.
Abatuuze mu kibuga Tehran ekya Iran, baakutte obutambi obwewuunyisa obulaga ennimi z’omuliro ezaasaasaanidde mu mpewo ng’omuliro gutambula.
Amafuta agaakubiddwa gaasaasaanidde n’emidumu gya kazambi.
Olwo eggye lya Yisirayiri lyabadde likubye emu ku dipo z’amafuta ga Iran ku Lwomukaaga mu mbeera eyatabudde abantu era enkuba bwe yatonnye mu muliro ogwo, yabadde ekka wansi ng’erimu omunyale olw’ebintu ebyabadde ng’ebisiriiza by’amafuta ebyabadde bikwatiridde mu bwengula.
ENNYONYI B-52 BOMBER
Ennyonyi ekika kya B-52 Strato fortresses long range heavy strategic bombers, zaatuuse dda mu ddwaaniro era ze zimu ku zongedde amaanyi mu lutalo.
Zino tezikuba nga ziva kumpi, era ezimu zaalabiddwaako nga zituuka mu Bungereza we zigenda okuvanga okukuba kyokka endala ziva butereevu ku kitebe kyazo ekya Barksdale Air Force Base mu ssaza lya Louisiana mu America.
Endala ziva mu nkambi ya Air Force Base mu ssaza lya North Dakota awali ekitebe ekikubi kya bbomu ekya 5th Bomb Wing.
Ekitebe kya Barksdale ky’ekikola ng’ekitebe ky’ennyonyi zonna ezikuba nga zisinziira wala oba ezikuba wonna mu nsi, kiyite ‘Air Force Global Strike Command (AFGSC).’
Okutolontoka okuva mu America okutuuka mu ddwaaniro, zaawerekeddwaako ennyonyi ennwaanyi entonotono okwekuuma omulabe.
B-52 nazo zisobola okwetooloola ensi nga teziyimiridde kwongerwamu mafuta kuba, waliwo ennyonyi endala ezigongeramu nga tezissa wansi.
Zitolontoka olugendo lwa mayiro 4,151 okumala essaawa munaana n’ekitundu nga teziyimiridde ne ziruddamu nga zimaze okukuba tageti okudda gye zaavudde.
ENTALO MWE ZIZZE ZIRWANA
1. Olwa Iran mwe zitandise okukola mu kikwekweto Operation Epic Furry
2. Operation Iraqi Freedom mu 2003 olwaggyako Saddam Hussein eyali owa Iraq.
3. Mu 1991 olutalo lwa Persian Gulf War, zaasimbulanga Diego Garcia mu liyanja lya Buyindi ne mu Amerika okulwana mu Iraq (olwa Iraq olwasooka).
4. Mu lutalo lw’e Bosnian, olwe Kosovo n’olwa Afghanistan mu 2001, zaasimbulanga mu bitundu bye bimu waggulu.
5. Olwa Vietnam
EBIKWATA KU NNYONYI ZINO
Omukutu gwa Wikipediagulaga bino;
l Emu yeetikka omugatte gwa buzito bwa kkiro 37,500. Olw’okuba nneetissi za bbomu, obuzito obwo ze bbomu z’esobola okutikka.
l Ebiwaawaatiro biwanvu mita 56 ekitegeeza byagala kwenkana kisaawe kya mupiira ekya mita 100.
l Edduka sipiidi ya 1,046 km/h
l Ennyonyi ekika kya KC-135 Stratotanker yeeyongera amafuta mu B-52.
l Ebeeramu abagoba bataano ng’abana bakafulu mu kugivuga ate omu kafulu mu kukuba bbomu.
l Zikolebwa kkampuni ya America ekola ennyonyi eya Boeing mu 1948 nga ssematalo owookubiri yaakaggwa mu 1945 ne zitandika okukola mu 1952.
lZaakolebwa okwanganga mizayiro ekika kya Inter-Continental Ballistic Missile (ICBM) ezaali zikoleddwa omukago gwa Soviet Union (Russia) nga zisobola okwetooloola ensi yonna ne zikuba we zaagadde ate nga zisobola n’okwetikka bbomu z’amaanyi ga nukiriya.

ENNYONYI DOOMDAY PLANE
Ennyonyi endala bagiyita Boeing 747 E-4 Advanced Airborne Command center.
Erya Doomsday lyagigattibwako bugassi olw’amaanyi gaayo nti yo, ekola nga mpuku buli agibeeramu tasobola kutuukibwako olw’obugumu bwayo, amaanyi n’ebyewuunyisa ebirala.
Eno tetera kulabikalabika era evaayo waliwo ekinene. Ka tugambe singa olutalo lunyiinyiitira ne kyetaagisa Pulezidenti wa America okwewogomako, mu eno mw’abeera. Teyavuddeyo kugenda mu Iran kulwana butereevu kyokka nayo yaweereddwa omulimu gw’okubeera obulindaala singa kyetaagisa Pulezidenti okuweebwa obukuumi obw’enjawulo nga waliwo ekiguddewo.
Ennyonyi eno eyakazibwako erya ‘Doomsday plane;
l Tekubwa bbomu yonna ne bw’ebeera ya nukiriya.
Buli lwe wabaawo olutalo olugenda mu maaso nga America erulimu, ennyonyi eyo evaayo n’ebeera bulindaala okukuuma Pulezidenti w’eggwanga eryo. Ky’ova olaba eyali Pulezidenti Joe Biden lwe yagenda mu lukiiko lw’amawanga ga Bulaaya okuteesa ku Ukraine, yagendera mu nnyonyi ya Pulezidenti entongole eya Air Force One kyokka n’eya Doomsday yali bulindaala.
Mu January w’omwaka guno nga Pulezidenti Donald Trump alagidde ekikwekweto ekyanona eyali Pulezidenti wa Venezuela, Nicolas Maduro era ennyonyi eno, yalabwako ku kisaawe kya Lax mu kibuga Los Angeles mu ssaza ly’e California.
l Ng’olutalo lugaziye ne wabeerawo okutya ng’eggwanga lyagala okukuuma obukulembeze, ennyonyi eno egendamu Pulezidenti ne ffamire ye; Abalala abalina okugibeeramu n’ebakuumira mu bwengula ng’olutalo bwe lugenda mu maaso mulimu; Minisita w’ebyokwerinda, minisita w’ensonga z’ebweru n’abenkizo abalala okuli bakomando abasinga okutwatibwako