Engeri poliisi gye yakuttemu Tabula ali ku musango gw'okutta Lwomwa

POLIISI erondodde nékwata omusajja Luggya Tabula Bbosa agambibwa okubeera mu lukwe lwókutta eyali omukulu wékika ky'Endiga ying Daniel Bbos

Engeri poliisi gye yakuttemu Tabula ali ku musango gw'okutta Lwomwa
By Eria Luyimbazi
Journalists @New Vision
#Amawulire #Tabula #Lwomwa

POLIISI erondodde nékwata omusajja Luggya Tabula Bbosa agambibwa okubeera mu lukwe lwókutta eyali omukulu wékika ky'Endiga ying Daniel Bbosa  bw'emukukunudde e Namulonge gy'abadde yeekukumye.

Ekikwekweeto ky’okukwata Tabula kyakulembeddwamu ekitongole kya poliisi ekikessi ki Crime Intelligence (CI) abaserikale baakyo bwe baamulondodde ne bamusanga mu Kimerika zzooni e Namulonge – Busukuma ku Mmande nga August 19, 2024.

Tabula Ku Poliisi ku mpingu.

Tabula Ku Poliisi ku mpingu.

Bino we bijjidde nga poliisi ebadde eyigga Tabula oluvannyuma lw’ettemu eryakolebwa ku ying Daniel Bbosa nga February 25,2024  bwe yali adda mu maka ge agasangibwa e Lungujja – Kikandwa mu Munisipaali y’e Lubaga  era nga poliisi yali yamussaako obukadde 20 eri omuntu alina amawulire agamukwatako.

Oluvannyuma lw’ettemu elyakolebwa ku ying Bbosa, Tabula eyasongebwamu olunwe nti ye yapangisa abatemu ekyamuviirako okutandika okuliira ku nsiko bwe yadduka mu maka ge agasangibwa ku kyalo Kabango mu muluka gw’e Kakoola, mu ggombolola ya Mutuba gumu e Mpigi.

Ebbanga ery’emyezi etaano Tabula ly’amaze ng’aliira ku nsiiko abadde yeekweka mu bitundu eby’enjawulo okusobola okwewala abaserikale okumukwata.

Okusinziira ku nsonda mu babadde mu kunoonyereza ku ttemu, kyazuulwa nti Tabula mu kiseera ekyo Tabula teyali wala n’ettemu  we lyali era bwe yafuna amawulire nti bamunoonya n’alinnya bodaboda eyamutwala e Katosi okusobola okwekweka.

E Katosi Tabula yeekukuma mu lusozi lwé Bwogya era nga yali abera n’owooluganda wabula nga naye yali tamanyi ensonga zireese Tabula okutuuka okugenda okubeera naye.

Tabula alinga emmandwa ezibadde zimutambulirako yafuna amawulire nga abaserikale bwe baategedde nga bwe yeekwese e Katosi kwe kuddukayo n’agenda okwekweka mu kizinga ky’e Kimi wabula nayo n’addukayo oluvannyuma lw’okukitegeera nti abantu ku kizinga kino baali batandise okumwekengera.

 Okuva ku kizinga Kimi Tabula yasalawo okuddukira ku kizinga Bukasa nayo gy’alina essabo ne yeekweka eyo okumala akaseera kyokka abaserikale ne balondoola ssimu okusobola okumukwata wabula nayo n’addukayo nga abaserikale tebannatuuka n’addayo e Katosi.

Oluvannyuma lw’ebbanga Tabula yavaayo e Katosi n’adda e Namulonge gye yamala akaseera nga yeekukumye wabula n’akoowaayo kwe kudda e Mpigi ne yeekukuma mu lusozi oluli okumpi n’amaka ge ku kyaalo Kabango era nga poliisi okuziikula obuwanga mu maka ge abadde abigoberera bulungi.

E Mpigi tabula yasazeewo okuvaayo n’addayo e Namulonge abaserikale gye baamukwatidde oluvannyuma lw’okutemezebwako.

Engeri poliisi gye yakuttemu tabula

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti Tabula abadde atambula ebitundu eby’enjawulo wabula nga abaserikale bamulinnya kagere n’okulondoola entambula ze mu bitundu gy’abadde yeekukuma.

“Abaserikale ababadde ku mulimu gw’okunoonya n’okukwata Tabula gubadde gutambula bulungi nga abamunoonya bamulinnya akagere buli kitundu gy’abadde yeekukuma era ku Mmande bwe baazudde waali ne bagendayo ne bamukwata”Rusoke bwe yategeezezza.

Yagambye nti oluvanyuma lwa Tabula okukwatibwa alina emisango emirala omuli egy’okusanga obuwanga bw’abantu 17 mu maka ge e Mpigi obwazuulwa nga July 17, 2024.

Yategeezezza nti obujulizi mu musango gw’okutta Lwomwa weebuli nga essaawa yonna agenda kutwalibwa mu kkooti avunaanibwe. Tabula alina okukola sitaatimenti ku poliisi e Nateete oluvannyuma atwalibwe mu kkooti avunaanibwe.

Mu kusooka poliisi yakwata abantu mukaaga okuli  Noah Luggya eyali ne munne Enock Sserunkuuma bwe baali ku pikipiki wabula  n’attibwa wamu ne Milly Naluwenda omuwandiisi w'omu kkooti ya Kisekwa, Joseph Nakabaale, Ezra Mayanja, Harriet Nakiguli abali ku alimanda mu kkomera e Luzira