Gavt. eraze enguudo 18 z'egenda okukola mu Wakiso okukendeeza jjaamu

Aug 24, 2024

MU kaweefube w’okukendeeza jjaamu mu Kampala, gavumenti eraze enguudo z’omu Wakiso ezigenda okukolebwa mu mwaka gw’ebyensimbi guno 2024/2025.

NewVision Reporter
@NewVision

MU kaweefube w’okukendeeza jjaamu mu Kampala, gavumenti eraze enguudo z’omu Wakiso ezigenda okukolebwa mu mwaka gw’ebyensimbi guno 2024/2025. Enguudo eziwerera ddala 18 mu Wakiso ze zigenda okukolebwa nga minisitule egasseeko enguudo endala 13 eziri mu Kampala ssaako oluguudo lumu oluli mu Mpigi.

Enguudo ezinokoddwaayo mu Wakiso kuliko; Bukasa-Sentema-Kakiri oluwezaako kkiromita 12.9, Bweya Namulanda olwa  kkiromita 9.5, Kisozi-Kitemu-Naggalabi spur nga lwa  kkiromita 7 ne Kitooro Kiwafu olwa  kkiromita 12.

 

Mu ndala kuliko Nakiwogo oluwezaako  kkiromita 3.5koluli mu munisipaali y'e Ntebe.

Enguudo ezigenda okukolebwa mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo kuliko olwa Nakayenga nga lwa  kkiromita 0.6, Namasuba Para Link olwa  kkiromita 0.6, Kibutika road lwa  kkiromita 2.9, Municipal road olwa  kkiromita1, Lubugumu-Kakora olwa  kkiromita 1, Lubugumu - Busaabala link 1 olwa   kkiromita 2.3, Lubugumu- Busaabala Link 2 olwa  kkiromita 1.2 ne Lubugumu-Busaabala link 3 olwa  kkiromita 0.5.

Enguudo endala ezitunuuliddwa mu munisipaali y'e Nansana; Nansana-Wamala- Katooke olwa  kkiromita 4.87, Maganjo-Jinja Karoli Link olwa  kkiromita 1.1, Katooke- Nabweru Link olwa 2.74.

Endala kuliko New Era- Lugoba link olwa  kkiromita 0.8, Nansana- Nabweru olwa  kkiromita 1.66 ne Nabweru-Kazo central Link olwa  kkiromita 1.64. Munisipaali y’e Ntebe erina oluguudo lumu oluwezaako  kkiromita 3.5 ate nga Wakiso ey’ekyalo enguudo zaayo ezigenda okukolebwa ziriko  kkiromita 29.4.

Yo disitulikiti y’e Mpigi yaweereddwa oluguudo lumu olwa Mpigi-Muduuma oluwezaako  kkiromita 15.6 ate ng’olwa Ntenjeru-Buule oluwezaako 19.8km mu disitulikiti ya Mukono lwakukolebwa mu kitundu ekyokubiri.

Diana Kabagambe, okuva mu minisitule ya Kampala yasinzidde ku kitebe kya disitulikiti e Wakiso bwe yabadde asisinkanye obukiiko obusunsula bakontulakita n’agamba nti basoose na kubangula bammemba b’obukiiko okulaba nga bafuna abakugu abamanyi kye bakola.

Yasabye abatuuze obutakaluubiriza bakola nguudo nga bwe kiba kyetaagisaayo mmita ku bibanja byabwe, baweeyo mu kwagala kuba kyongera ku nkulaakulana y’ebitundu.

Ssente ezigenda okukola enguudo zivudde mu World Bank. Amyuka CAO wa Wakiso, Betty Nankindu yalabudde abaweereddwa kontulakiti z’okukola enguudo zino obutakola mirimu mu ngeri eya gadibengalye.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});