Gavt. eraze enguudo 18 z'egenda okukola mu Wakiso okukendeeza jjaamu
Aug 24, 2024
MU kaweefube w’okukendeeza jjaamu mu Kampala, gavumenti eraze enguudo z’omu Wakiso ezigenda okukolebwa mu mwaka gw’ebyensimbi guno 2024/2025.

NewVision Reporter
@NewVision
MU kaweefube w’okukendeeza jjaamu mu Kampala, gavumenti eraze enguudo z’omu Wakiso ezigenda okukolebwa mu mwaka gw’ebyensimbi guno 2024/2025. Enguudo eziwerera ddala 18 mu Wakiso ze zigenda okukolebwa nga minisitule egasseeko enguudo endala 13 eziri mu Kampala ssaako oluguudo lumu oluli mu Mpigi.
Enguudo ezinokoddwaayo mu Wakiso kuliko; Bukasa-Sentema-Kakiri oluwezaako kkiromita 12.9, Bweya Namulanda olwa kkiromita 9.5, Kisozi-Kitemu-Naggalabi spur nga lwa kkiromita 7 ne Kitooro Kiwafu olwa kkiromita 12.
Mu ndala kuliko Nakiwogo oluwezaako kkiromita 3.5koluli mu munisipaali y'e Ntebe.
Enguudo ezigenda okukolebwa mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo kuliko olwa Nakayenga nga lwa kkiromita 0.6, Namasuba Para Link olwa kkiromita 0.6, Kibutika road lwa kkiromita 2.9, Municipal road olwa kkiromita1, Lubugumu-Kakora olwa kkiromita 1, Lubugumu - Busaabala link 1 olwa kkiromita 2.3, Lubugumu- Busaabala Link 2 olwa kkiromita 1.2 ne Lubugumu-Busaabala link 3 olwa kkiromita 0.5.
Enguudo endala ezitunuuliddwa mu munisipaali y'e Nansana; Nansana-Wamala- Katooke olwa kkiromita 4.87, Maganjo-Jinja Karoli Link olwa kkiromita 1.1, Katooke- Nabweru Link olwa 2.74.
Endala kuliko New Era- Lugoba link olwa kkiromita 0.8, Nansana- Nabweru olwa kkiromita 1.66 ne Nabweru-Kazo central Link olwa kkiromita 1.64. Munisipaali y’e Ntebe erina oluguudo lumu oluwezaako kkiromita 3.5 ate nga Wakiso ey’ekyalo enguudo zaayo ezigenda okukolebwa ziriko kkiromita 29.4.
Yo disitulikiti y’e Mpigi yaweereddwa oluguudo lumu olwa Mpigi-Muduuma oluwezaako kkiromita 15.6 ate ng’olwa Ntenjeru-Buule oluwezaako 19.8km mu disitulikiti ya Mukono lwakukolebwa mu kitundu ekyokubiri.
Diana Kabagambe, okuva mu minisitule ya Kampala yasinzidde ku kitebe kya disitulikiti e Wakiso bwe yabadde asisinkanye obukiiko obusunsula bakontulakita n’agamba nti basoose na kubangula bammemba b’obukiiko okulaba nga bafuna abakugu abamanyi kye bakola.
Yasabye abatuuze obutakaluubiriza bakola nguudo nga bwe kiba kyetaagisaayo mmita ku bibanja byabwe, baweeyo mu kwagala kuba kyongera ku nkulaakulana y’ebitundu.
Ssente ezigenda okukola enguudo zivudde mu World Bank. Amyuka CAO wa Wakiso, Betty Nankindu yalabudde abaweereddwa kontulakiti z’okukola enguudo zino obutakola mirimu mu ngeri eya gadibengalye.
No Comment