Aba boodabooda e Nansana bakoze akajagalalo nga batwala RDC Shafick Nsubuga mu office ye e Kampala
Ebyentambula bisannyaladde abavuzi ba bodaboda okuva e Nansana bwebagye abadde RDC wa Nansana Ali Shafick Nsubuga mu motooka ye ne bamutuuza ku bodaboda ne bamuvuga okuva ku kisaawe e Nabweru okumutuusa KU offisi ye empya nga RCC wa Kampala central.
RDC Nsubuga ng'atudde ku boodabooda bamutwala mu office ye empya
By Kiragga Steven
Journalists @New Vision
Ebyentambula bisannyaladde abavuzi ba bodaboda okuva e Nansana bwebagye abadde RDC wa Nansana Ali Shafick Nsubuga mu motooka ye ne bamutuuza ku bodaboda ne bamuvuga okuva ku kisaawe e Nabweru okumutuusa KU offisi ye empya nga RCC wa Kampala central.
Nsubuga atudde ku bodaboda n'abakuumi be ne balinnya endala olutusiddwa ku offisi mu Kampala ne yetondera abantu abatataganyiziddwa mungeri gyaleteddwamu era neyeyama okukola ku nsonga za bannakampala naddala abavubuka ba Ghetto ababadde basulibwa ebbali.
Wano Rashid Musa ssentebe wa bavuzi ba bodaboda mu divizoni ye Nansana wasiimidde Nsubuga olw'emirimu gyakoze mu Nansana naddala mu kulwanyisa ebikolwa by'obumenyi bwa mateeka.
Ye RCC wa Kampala Jane Asiimwe wano wasabidde bonna abaweereza okubeera obumu era bafube okukola ku nsonga eziruma bannakampala okuganyulwa mu bukulembeze bwabwe.