OMUKULU w’ekika ky’empologoma omuggya, Ssebuganda Namuguzi Erukaana Lukanga ayanjuddwa ewa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga n’amusaba ayigirize bazzukkulu be ebikwata ku okukuumira ab’ekika kino mu buufu bwa Ssabasajja Kabaka.
Omukolo guno gubadde Bulange-Mmengo emisana ga leero ng’ono ayanjuddwa Katikkiro w’ekika kino, Omutaka Kireega Patrick Ddungu Kisekka ng’ali wamu n’abamasiga.
Katikkiro Mayiga era asabye abazadde okulaba nga bawa n’okutuuma buli mwana erinnya erirye kiyambe okutaasa ku kuzaaya kwaago mu maaso singa buli muzadde asalawo okutuuma erinnya lye eri abaana be bonna.
Katikkiro ng'ayaniriza omutaka Omutaka Kireega Patrick Ddungu Kisekka
“ Tulina ekirowoozo okubangula ku nsonga z’ebika kutandikire awo ku nsonga y’okuwa abaana amannya nga bazaaliddwa ate kugattibweko n’ebintu ebirala ng’emirimu katugambe ab’empologoma gyebakola mu Lubiri bagimanyi? Okugeza Omutaka Kireega yaleega engoma Mujjaguzo,” Mayiga bweyagambye.
Kamalabyonna asabye Omutaka Namuguzi ono okulungamya n’okulambika bazzukkulu ng’abazza eri Kabaka wa Buganda kubanga y’atwala Abataka bonna.
Omutaka Ssebuganda Namuguzi Lukanga azze mu bigere bya Kitaawe Namuguzi Wilson Ndawula ng’ono yava mu bulamu bwensi nga August 14, 2024 era yawereddwa Lubuga nga ye Suzan Nalwadda okuva mu ssiga lya Ndawula Lukanga.
Omutaka Kireega Kisekka abuulidde Katikkiro nga bwabalina essuubi nti Namuguzi Lukanga ajja kusobola okutambuza ensonga z’ekika kubanga okuva mu butoobwe abaddenga ne Kitaawe ku lusegere kyokka n’asaba Obwakabaka okumuyambako ayongere ku misomo gye.
“Omutaka Lukanga abadde ku lusegere lwa kitaawe era nnina obukakafu nti emirimu ajja kugikola bulungi kyokka okusaba kwetulina eri Obwakabaka, bwewabeerawo omukisa gwonna ogusobozesa okuddayo okwongera okusoma,gumuweebwe,” Omutaka Kireega bweyayogedde.
Minisita w’obuwangwa,ennono n’obulambuzi mu Buganda, Dr. Athony Wamala ategezezza ng’emikolo gyonna egy’ennono egigobererwa ng’Omukulu w’ekika abuze, bwegikoleddwa obulungi nga gyalondoddwa Bakatikkiro b’ebika okuli Waggala Lubanga ow’empeewo, Kato Kituuma ow’Ennyange ate Natig Godfrey Katende ow’olugave nga bano baatuumwa olukiiko lw’Abataka okutuukiriza obuvunanyizibwa buno.
Omutaka Ssebuganda Namuguzi Lukanga wa myaka 27.Ava mu ssiga lya Ssegamwenge ate Nnyina ye Faustina Nakirijja.
Omutaka Namuguzi Ndawula agenda kuterekebwa olunaku lw’enkya ku butaka bw’ekika kino obusangibwa e Lwadda-Matugga mu ssaza ly’e Kyadondo.