Ab'emisinde beepikira midaali

Bamusaayi muto ba Uganda abaddusi bayingira ensiike olwaleero nga batunuulidde kuwangula midaali okubbulula Uganda ebadde tenakola bulungi mu mizannyo gyamassomero egiyindira mu Algeria.

Omuddusi wa Uganda
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Emizannyo Gyamassomero

Badminton Quarter Finals

Sehila Omar (ALG) 2-1 Bakaki Marvi (UGA)

Eltaweel Noor (EGY) 2-0 Christine Kadondi (UGA)

Doubles Quarter Final

C.kadondi & C. Ayikoru (UGA) 0-2 A. Moslena & R. Quarcoo (GHA)

Mu Kuwuga Leero

100m Backstrok - Paula Nabukenya ne Rahmah kalungi

100m Butterfly - Elijah Wamala

100m Breastroke ne 200m Backstroke -Tumusiime Kodet

Emisinde leero

100m Muhwezi Abraham

400m Rashad Atuyambe

3000m Karen Chelimo

Bamusaayi muto ba Uganda abaddusi bayingira ensiike olwaleero nga batunuulidde kuwangula midaali okubbulula Uganda ebadde tenakola bulungi mu mizannyo gyamassomero egiyindira mu Algeria.

Uganda yasindika ekibinja kyabaddusi mukaaga okuli abawala basatu n'abalenzi basatu abaduumirwa kizito Loput eyawangula omudaali gwekikomo mu mpaka zabavubuka ezaali e serbia omwaka kuntandikwa yomwaka guno.

Abraham Muhwezi yasookawo mu nsiike nga atolontoka mbiro eza mmita 100 wamu ne Rashad Atuyambe adduka embiro eza mmita 400.

Abaddusi ba Uganda

Abaddusi ba Uganda

Ye omuwala Karen Chelimo ajja kudduka mu mbiro za mmita 3000 ku ssaawa 5 ezekiro.

Mungeri yemu nabawuzi bakomawo mu nsiike olwaleero okunoonyayo ku mudaali mu mutendera gwa 100m backstroke ne 100m Batterfly.

Paula Nabukenya ne Rahmah Kalungi baakwetaba mu za 100m Backstroke ate Elijah Wamala (100m Batterfly) ne Tumusiime Kodet mu 100m ne 200m Backstroke baggalewo omuyiggo gwemidaali gya uganda mu kuwuga.

Mu badminton munnayuganda christine Kadondi ne Marvin Bakaki baakubiddwa ku luzannya lwa Quarter finals.