Omuliro ogutannamanyika kwe guvudde gukutte amayumba ku mwalo ogw’e Ggunga ogusangibwa mu ggombolola y’e Mazinga mu bizinga by’e Ssese okukkakkana nga gusaanyizzaawo ebintu bya bukadde ssaako okuttiramu omwana ow’emyaka esatu gyokka.

Amayumba Agayidde Mu Muliro Guno Gasukka Mu Makumi Asatu. Ekif. Kya Simu
Abubakali Seruwu kkansala w’ekitundu kino agamba nti tebaategedde muliro kwe gwavudde kyokka baagezezzaako okutaakiriza n’essefuliya, amabaafu wabula nga gwongera kutinta.
“Tufiiriddwa ebintu bya bulindo bwa nsimbi kubanga mu biyidde mubaddemu amaduuka, botiiki, emizigo kw’ossa ebintu by’omu maka binji,” Kabugo Erifazi ow’ebyokwerinda bwe yategeezezza.
Kitaawe w’omwana eyafudde yali yayawukana ne nnyina era nga ye abadde abeera Mukono so nga omwana abadde abeera ku kizinga ku mwalo guno era enjega eno we yagwiriddewo yabadde taliiwo nga n’ennyumba kuliko kkufulu, ekyalemesezza abaddukirize okumutaasa.