OMUSAJJA agambibwa okukukusa omuwala atanneetuuka ow’emyaka 16 n’atandika okwetaba naye mu bikolwa by’omukwano gw’abakulu akwatiddwa n’asimbibwa mu kkooti nayo emusinde ku limanda e Luzira.
Kuraish Mukiga 32, mutuuze w’e Kasubi mu Lubaga y’asimbiddwa mu maaso g’akulira abalamuzi ba kkooti ya Mwanga II e Mengo owookubiri, Naume Sikhoya amusomedde ogw’okukukusa omuntu.

Mukiga Ng'awuliriza Omulamuzi Mu Kaguli Ka Kkooti.
Kigambibwa nti Mukiga, nga May 20, 2024 e Kasubi yakukusa era n’akweka omuwala (amannya gasirikiddwa) n’amukaka okwetabanga naye mu bikolwa by’emboozi z’ekikulu ng’amufudde muganzi we.
Mu kkooti, yabyegaanyi n’ategeeza omulamuzi nti omuwala ayogerwako yamuyamba buyambi ne mukyala we era n’emyaka egy’ogerwako 16 yagiwakannyizza n’ategeeza nti alina 19 kyokka yeegaanyi eby’okumusobyako.
Yategeezezza nti naye yalabira awo nga Poliisi emukima awaka mbu yakukusa omuwala era n’aloopera omulamuzi nti amaze mu kaduukulu wiiki bbiri nga tatwalibwanga kuvunaanibwa.
Kino tekyamuwonyezza era olw’okuba teyabadde na bamweyimirira, omulamuzi Sikhoya yamusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga September 6, 2024 lwe gunaddamu.