Abaakosebwa enjega eyagwa e Kiteezi basindidde omugagga Kirumira ennaku y'obutaba na ttivvi

ABANTU b’e Kiteezi ennaku y’okufiirwa abantu baabwe bagisibye ku bbali nga balabye ku ssentebe w’abagagga b’omu Kampala abakyaliddeko  ng’ali wamu n’ba KACITA ne bamusinddira ennaku yaabwe.

Abaakosebwa enjega eyagwa e Kiteezi basindidde omugagga Kirumira ennaku y'obutaba na ttivvi
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision
#Kirumira #Kiteezi #Kampala #KCCA #Ssekitto #Kutona #Kuyamba

ABANTU b’e Kiteezi ennaku y’okufiirwa abantu baabwe bagisibye ku bbali nga balabye ku ssentebe w’abagagga b’omu Kampala abakyaliddeko  ng’ali wamu n’ba KACITA ne bamusinddira ennaku yaabwe.

Ssebo omubaka wa Namibia mu Uganda era ssentebe wa banannyini bizimbe mu Kampla tukussanyukidde ne kibinja ky’a basuubuzi kyozze nakyo wano,

Kirumira N'abalala Nga Batuuseeko Mu Weema Awasulwa Abantu Abaakosebwa.

Kirumira N'abalala Nga Batuuseeko Mu Weema Awasulwa Abantu Abaakosebwa.

Abantu abasukka mu 300, abakuumirwa mu tenti mu kifo kino bategezezza ssentebe w’abagagga b’omu Kampala Godfrey Kirumira nti;

“Ebintu bye mutuletedde  tubisanyukidde nnyo naye bakama baffe  tulina ekizibu tetulina ttivvi okusobola okulaba ku bigenda mu maaso mu nsi n’ebyo gavumenti bye yeeyama okutukolera.

Ebimu Ku Bintu Ebyaweereddwayo.

Ebimu Ku Bintu Ebyaweereddwayo.

Abakyala bayongeddeko nti, "ssebo Kirumira abasinga wano ba bbaffe baafiira mu kabenje kano era tumaze kumpi omwezi mulamba tetulina ssente zikola nviiri ssaako n’okugula ku “Airtime” kyokka nga tulina abantu baffe be twagala okuwuliza.”

“Ebizibu byammwe mbiwulidde era nzikkiriza okubagulira ttivvi enenne ddala n’okubawa obukadde buna mugabane musobole okufuna ssente ezikola enviira n’abasajja okugula ‘Airtime’ nga kuno ngasseeko n’okubaawa bbasale z’abaana bannamukisa 10, mu masomero gange, Kirumira bwe yategeezezza.

Omugagga Kirumira Ng'ava Okulambula Ekifo Awaagwa Enjega Mu Kiteezi.

Omugagga Kirumira Ng'ava Okulambula Ekifo Awaagwa Enjega Mu Kiteezi.

Omwogezi  wa KACITA mu ggwanga, Issa Ssekitto yayanjulidde bakaawonawo ne KCCA ebintu bye babaleetedde omuli akawunga, omuceere, soda, amazzi, engoye ne kalonda omulala era kaweefube ono yakulembeddwa ssentebe waabwe Dr. Thaddeus Musoke Nagenda n’abasuubuzi abalala.

“Naffe nga ofiisi ya KACITA tuwadde abaana abaafiirwako bazadde baabwe n’abaana baabwe ba kaawonawo bbasale okuva ku Nursery okutuuka ku siniya nga tekuli kkom.