NZE nayiwa omusaayi gwa Lwomwa baganda bange babavunaanira bwereere be nakikola nabo mbamanyi era bakimanyi tekinneetagisa na kuwozesebwa omusango ngumanyi naguzza naye abataguuliko bayimbulwe.
Bino byabadde bigambo bya Tabula Bbosa omuvunaanwa omukulu mu musango gw’okutta eyali akulira ekika ky’e Ndiga bw’abadde aweereddwa omukisa okwogerako eri omulamuzi wa kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo Adams Byarugaba.
Nga tannayogera, abana ku bavunaanibwa be basoose okwogerako eri kkooti wabula nga balinga abasizza ekimu bakira buli omu ky’ayogera nti oweekitiibwa omulamuzi nze bankwata nga bambuuza Tabula era bansuubiza nti singa aliba akwatiddwa baakubayimbula kati mu kkooti waali bonna ne basaba okuteebwa.
Harriet Nakiguli nga mwannyina wa Tabula yategeezezza nti yaleka abaana be basatu okuli asoma P7, P6 ne P5 nga bonna kati tekuli ayamba n’okusoma tebasoma.
Milly Naluwenda ng’ono yali muwandiisi wa Kkooti ya Kisekwa e Mengo yategeezezza nti, bamuvunaana gwa kukubira Tabula ssimu era agamba takyewakana yamukubirako wabula yali atuukiriza buvunaanyizibwa bwe ng’eyaweebwa omulimu gw’embuga.
Ezra Mayanja mukulu wa Tabula ye agamba baamukwata bamubuuza muto we kyokka mbu naye baamusuubiza okumuyimbula singa aba afunise n’okutuusa kati akyali mu kkomera kyokka ne Joseph Nakabaale yayogedde kye kimu.
Noah Luggya ng’ono y’agambibwa okusika emmanduso okutta Lwomwa ye mpaawo kye yayogedde okuggyako kkooti olwawedde yalabiseeko nga yeekuba obwama ne Tabula.
Oludda olwaabi olwakulembeddwamu Caroline Mpumwire omuwaabi wa Gavumenti lwategeezezza kkooti nti, okunoonyereza kwawedde era bano babadde baakusindikibwa mu kkooti enkulu okutandika okuwerennemba n’ogwettemu wabula eggulolimu baafunye amawulire amalala agekuusa ku musango agatalinda nga geetaagisa okwongera mu ffayiro n’asaba bamwongereyo akaseera katono akimalirize.
Newankubadde bano baabadde baagala okuyimbulwa, omulamuzi yabategeezezza nti ogubavunaanibwa gwa naggomola kkooti terina buyinza wabula okusaba kkooti enkulu esobola okubayamba.
Kkooti yawadde oludda oluwaabi wiiki ssatu zokka okutuusa nga October 24, 2024 lwe banaasindikibwa mu kkooti enkulu okwewozaako.
Kigambibwa nti bano beekobaana nga February 25, 2024 ne batta Yinginiya Daniel Bbosa Kakeedo eyali Lwomwa kati omugenzi bwe yali atuuka mu maka ge e Lungujja Kikandwa.