Tabula asabye kkooti ewozese ye yekka ku by’okutta Lwomwa

NZE nayiwa omusaayi gwa Lwomwa, abalala bonna bayimbulwe kubanga baabakwatibwa bwereere, kkooti tesaana kumala budde mu musango guno kuba nze nnaguzza era nagukkiriza dda...

Tabula ng’awanise omukono mu kkooti. Abalala ye Nakiguli, Nakabaale, Mayanja ne Naluwenda (ku ddyo) mu kaguli.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

NZE nayiwa omusaayi gwa Lwomwa, abalala bonna bayimbulwe kubanga baabakwatibwa bwereere, kkooti tesaana kumala budde mu musango guno kuba nze nnaguzza era nagukkiriza dda...
Bino byabadde bigambo bya Tabula Bbosa omuvunaanwa omukulu mu musango gw’okutta eyali akulira ekika ky’Endiga bwe yaweereddwa omukisa okwogerako eri omulamuzi wa kkooti ya Nateete - Lubaga e Mengo, Adams Byarugaba. Nga tannayogera, abana ku bavunaanibwa be baasoose okwogerako eri kkooti wabula nga balinga abassizza ekimu. Bakira buli omu ky’ayogera nti: oweekitiibwa omulamuzi nze bankwata nga bambuuza Tabula era bansuubiza nti singa aliba akwatiddwa baakubayimbula kati mu kkooti waali bonna ne basaba okuteebwa.
Harriet Nakiguli, mwannyina wa Tabula yategeezezza nti yaleka abaana be basatu okuli asoma P7, P6 ne P5 nga bonna kati tekuli ayamba n’okusoma tebasoma. Milly Naluwenda ng’ono yali muwandiisi wa Kkooti ya Kisekwa e Mengo yategeezezza nti, bamuvunaana gwa kukubira Tabula ssimu era agamba takyewakana yamukubirako wabula yali atuukiriza buvunaanyizibwa bwe ng’eyaweebwa omulimu
gw’embuga.
Ezra Mayanja, mukulu wa Tabula ye agamba baamukwata bamubuuza muto we kyokka mbu naye baamusuubiza okumuyimbula singa aba afunise n’okutuusa kati akyali mu kkomera kyokka ne Joseph Nakabaale yayogedde kye kimu.
Noah Luggya, ng’ono y’agambibwa okusika emmanduso okutta Lwomwa ye mpaawo kye yayogedde okuggyako kkooti olwawedde yalabiseeko nga yeekuba obwama ne Tabula.
Oludda olwaabi olwakulembeddwAamu Caroline Mpumwire, omuwaabi wa Gavumenti lwategeezezza kkooti nti, okunoonyereza kwawedde era bano babadde baakusindikibwa mu kkooti enkulu okutandika okuwerennemba n’ogw’ettemu  wabula eggulolimu baafunye amawulire amalala ageekuusa ku musango agatalinda nga geetaagisa okwongera mu ffayiro n’asaba bamwongereyo akaseera katono akimalirize. Kkooti yawadde oludda oluwaabi wiiki ssatu zokka okutuusa nga October 24, 2024 lwe  banaasindikibwa mu kkooti enkulu okwewozaako. Kigambibwa nti bano beekobaana nga February 25, 2024 ne batta Yinginiya Daniel Bbosa Kakeedo eyali Lwomwa bwe yali atuuka mu maka ge e Lungujja Kikandwa