Akabenje kasse 6 e Luweero Sinnalya okumpi ne Bombo

Akabenje kagudde e Luweero ne katuga 6.  Akabenje kaagudde ku kyalo Sinnalya okumpi ne Bombo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu. Kaaguddewo ku ssaawa 9:30 ez’olweggulo ku Lwokusatu.

Akabenje kasse 6 e Luweero Sinnalya okumpi ne Bombo
By Kanyike Samuel
Journalists @New Vision
#Amawulire #Luweero #Sinnalya #Bombo

Akabenje kagudde e Luweero ne katuga 6.  Akabenje kaagudde ku kyalo Sinnalya okumpi ne Bombo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu. Kaaguddewo ku ssaawa 9:30 ez’olweggulo ku Lwokusatu.

Ttakisi eyasaanyeewo.

Ttakisi eyasaanyeewo.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savana, Sam Twineamazima yategeezezza nti akabenje kaavudde ku mugoba wa Fuso nnamba UBN 052 L eyabadde avugisa ekimama ng’ava e Kampala okudda e Gulu bwe yayagadde okuyisa n’ayambalira ttakisi (drone) nnamba UBL 502Z eyabadde eva e Gulu okudda e Kampala.

Omutwe gwa FUSO baagubetense gwonna ne ttakisi n’efufunyala era ekifo kyonna ne kibuna omusaayi era abantu abamu okubaggya mu mmotoka baabatemyeyo na mbazzi.

Fuso eyabadde mu kabenje.

Fuso eyabadde mu kabenje.

Abantu mukaaga be baafiiriddewo okuli; omukozi wa minisitule y’ebyenguudo, Charles Operisa, Rogers Mifumikiza ow’e Kisoro, Joshua Ebong, Ephraim Mugerwa, Kato n’omukyala ataategeerekese mannya.

Emirambo gyatwaliddwa mu ggwanika e Kasana ate ebidduka ebyagoyeddwa ne bitwalibwa ku poliisi e Bombo ng’okunoonyereza bwe kukolebwa.

Abatuuze baategeezezza nti ekitundu kino kyafuuka kattiro olw’obubenje obugwawo buli kaseera ne butta abantu. Gye buvuddeko waliwo abantu musanvu abaali bava e Kampala nga bagenda e Luweero okusamba omupiira abaafiirawo.