ABAZADDE b’abaana abalina obukosefu ku bwongo mu muluka gwe Mutungo mu Nakawa bawanjagidde Gavumenti eveeyo eyongere amaanyi ku ntekateeka y’okubudabuda n’okuyamba ku baana bano nadala mu by’enjigiriza.
Bino babyogeredde mu nsisinkano gyebabaddemu e Mutungo webasinzidde n’okusomesebwa ku ngeri gyebasobola okulwanyisa okusomoozebwa okw’enjawulo kwebayitamu mu kukuza abaana bano.
Mary Komungaro nga alina omwana aliko obukosefu ku bwongo ategezezza nti bo nga abazadde abalina abaana bano basanga ebizibu bingi mu kubalabirira omuli n’okuba nga ebyetaago byabwe bya beeyi nnyo okuviira ddla ku by’okulya .
Ategezezza nti abaana bano betaaga okusoma okw’enjawulo okwawukana ku kusoma okwabulijjo kubanga bo bwebafuna obukosefu buno ku bwongo bumanyi okubagongobaza ebimu ku bitundu by’omubiri nga n’abamu tebatambula bulungi n’okwogera.
Agamba nti embeera z’abaana bano zibaviiriddeko nebataata b’abaana bano okubaddukako kati nga obuvunaanyizibwa bwonna bakyala bebabwetisse.
Kyokka alaze okwennyamira olw’emirimu gyabwe okuzinngama olw’okuba nga buli kadde babeera balina kubeera ku baana bano.
Peninah Babirye nga naye alina omwana alina obukosefu ku bwongo gw’alabirira ategezezza nga okusomoozebwa okusinga bwekuli mu kubalabirira mu by’okulya nga babeera balina kulya mmere egonda yokka.
Asabye Gavumenti okuvaayo ekwatireko abazadde abalina embeera z’obukosefu ku bwongo ebazimbire amasomero mwebasobola okukuumira abaana bano.
Grace Najjita akulira ekibiina ekikumaakuma abaliko obukosefu ku bwongo ekya Brain Injury Association Uganda ategezezza nga obulwadde buno bwebutasosola mu myaka kyokka nga bumanyi n’okumala akaseera nga tebunneyoleka.
Avumiridde nnyo abantu abayeeyereza abantu abalina obukosefu buno n’abasaba okukikomya wabula babayambeko okulaba nga babudaabudibwa.
Oluvannyuma abazadde bano basomeseddwa okukola sabuuni kibayambeko okuyingiza ensimbi