Ebitiisa ku akulira Hamas Yisirayiri gwe yasse

Oct 20, 2024

OMUKAMBWE Yahya Sinwar 61 abadde akulira Hamas, ddaaki Yisirayiri emusse oluvannyuma lw’emyaka 15 ng’emwegezaamu okumutta kyokka ng’asimattuka!. Sinwar y’abadde akulira Hamas mu Gaza okuva 2017 era y’abadde omuduumizi wa Hamas ow’oku ntikko eyalondeddwa mu August 2024 okudda mu bigere bya Ismail Haneyah eyatemuddwa Yisirayiri mu Iran

NewVision Reporter
@NewVision

OMUKAMBWE Yahya Sinwar 61 abadde akulira Hamas, ddaaki Yisirayiri emusse oluvannyuma lw’emyaka 15 ng’emwegezaamu okumutta kyokka ng’asimattuka!. Sinwar y’abadde akulira Hamas mu Gaza okuva 2017 era y’abadde omuduumizi wa Hamas ow’oku ntikko eyalondeddwa mu August 2024 okudda mu bigere bya Ismail Haneyah eyatemuddwa Yisirayiri mu Iran.
Yattiddwa amagye ga Yisirayiri ku Lwokuna mu nzita eyasinze okwewuunyisa bwe baamuguddeko nga tategedde.
Baali baamuvaako nga bamanyi ali mu mpuku enyingi eneekusifu mu Gaza ng’ekikyabeewunyisa, ezisinga baazikuba ne bazaabya kyokka nga yababula.
Kyokka amawulire ga BBC gagamba nti ekibinja ky’eggye lya Yisirayiri ekiyitibwa Bislamach Brigade, kyabadde kirawuna ekitundu kya Tal al-Sultan mu kabuga Rafah, kwe kulengera abantu basatu abaabadde bava mu biyumba by’ebifulukwa ebyakubwa edda nga bava mu kimu bwe badda mu kirala.
Lyabadde ssanyu mu Yisirayiri oluvannyuma lw’amawulire g’okuttibwa kwa Sinwar
okukakasibwa era Katikkiro Benjamin Netanyahu kennyini ye yabise Yahya n’agamba nti ye yali kafulu mu kutegeka olulumba lwa Hamas nga 7 October omwaka oguwedde bwe baalumba Yisirayiri ne battayo abantu 1,200 n’okuwamba abalala 250.
Emyaka 61 gy’amaze ku nsi emyaka egisinga obungi abadde mu makomera ga Yisirayiri! Lwe yasemba okukwatibwa gwali mwaka gwa 1988, kkooti n’emuwa
ekibonerezo kya kusibwa emyaka 426 kyokka baamusibamu emyaka 23 n’ayimbulwa mu 2011 mu ddiiru Yisirayiri mwe yayimbulira abasibe abalala 1,026 okusobola okununula omujaasi waayo Gilad Shalit aba Hamas gwe baali baawamba. Okuva 2011 Sinwar abadde yasooka waggulu ku bakamanda ba Hamas ab’okutta era eggye lya IDF lizze litta banne ab’amaanyi bwe bazze baduumira Hamas okuli Mohammad Dief, Ismail Haniyeh gwe battira mu Iran n’abalala nga ye yababulako.
ENGERI GYE BAAMUSSE
Eggye lya Yisirayiri erya Israel Defense Forces (IDF), ebitundu ebyo baabikuba dda era baabadde tebasuubirayo ba Hamas nga n’abaamwo badduka ne bifuuka matongo.
Baabalumbye ne babakubamu amasasi kyokka tebaasoose kukimanya nga babakubamu
amasasi g’emmundu ekika kya Machine guns ez’amaanyi, nti ku basatu kwe kwabadde Yahya, ababiri baabadde bakuumi be.
Akabinja kaabunye emiwabo nga kayita mu bukuubokuubo n’okubuuka amafunfugu
g’agazimbe ng’emmundu etokota nga nabo baddiza aba IDF kubanga baabadde nazo.
IDF yasseeko babiri kyokka waliwo omu (Yahya) eyalabise nga komando eyabuzeewo n’emmundu ennene ne yesogga ekimu ku bifulukwa n’asirikiramu. IDF yakubye ekifulukwa ng’ekozesa ttanka ne kyongera okuyiika kwe kuwulirayo omuntu . Baasiriikirizzaamu ne basindikayo ennyonyi ya drone yeevuga yokka okulaba awatuufu
alaajana waali.
Yahya bwe yalabye ennyonyi ng’emutunuddemu n’agezaako emmundu agikube
amasasi kyokka ng’alumiziddwa nnyo talina maanyi.
Waliwo akatambi akaakwatiddwa ennyonyi eno akamulaga ng’agezaako okusitula ejjinja agikube nakyo ne kimulema. Olw’okuba ennyonyi eno ebifaananyi yabadde ebiweereza butereevu abaabadde mu ttanka, baamulabye nga ye mukambwe
yennyini gwe baali banoonya ne bagezaako okwesogga ekizimbe bamumalirize.
Yahya bwe yawulidde nga bayingira ne yevaamu n’asumulula amasasi kyokka baabadde bangi ne bagamukuba n’asirika. Omwogezi wa IDF, Daniel Hagari yagambye nti beewuunyizza okulaba nga ye Yahya kubanga baali ebasuubira nti akyali mu Gaza.
Yoav Gallant nga ye minisita wa Yisirayiri ow’ebyokwerinda yagambye nti baasoose kukebera DNA ya Yahya n’amannyo ge okukakasa nti ye ye nga bino baabikoledde mu Yisirayiri ne bamulangrira nti bamusse

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});