Amawulire

Ebya Don Nasser bibi ; bamugguddeko omusango omulala!!

Omudigize w'omu Kampala amanyiddwa nga Don Nasser ebibye biwanvuye Ssaabawaabi wa gavumenti bw’amuguddeko omusango omulala ku bigambibwa nti yakwata omwana atanneetuuka. 

Ebya Don Nasser bibi ; bamugguddeko omusango omulala!!
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

Omudigize w'omu Kampala amanyiddwa nga Don Nasser ebibye biwanvuye Ssaabawaabi wa gavumenti bw’amuguddeko omusango omulala ku bigambibwa nti yakwata omwana atanneetuuka. 

Nasser yakwatibwa ku bigambibwa nti yakwata omwana atanneetuuka ono ng’avunaanibwa ne Promise Ateete 19, okola obwakiyambi mu yafeesi y’omubaka mu munisipaali ya Ntungamo Yonna Musinguzi.

Don Nasser Ne Promise Ateete Mu Kaguli Ka Kkooti (2)

Don Nasser Ne Promise Ateete Mu Kaguli Ka Kkooti (2)

Oluteteddwa mu kkooti omuwaabi wa gavumenti n’ategeeza kkooti nga bwe yakoze ennongoosereza mu mpaaba ya kkooti ku misango egivunaanibwa ababiri bano era okukkakkana nga babongeddeko omusango ogw'okusatu.

Omusango ogugattiddwako kigambibwa nti Ateete yayambako okuleeta omwana ali wansi w’emyaka 18 eri Nasser okumukozesa ebikolwa eby'omukwano bino nga byabeerawo mu mwezi gwa May 3, 2024 ku luguudo lwa Acacia e Kamwokya mu disitulikiti y’e Kampala.

Bakkirizza nti emisango bagitegedde wabula omulamuzi Ronald Kayizzi abategeezezza nga bwe batalina lukusa kuwulira musango gwa kikula kityo era nga balina olukusa okusaba okweyimirirwa mu kkooti enkulu ewozesa emisango egyannaggomola.

Emisango emirala ebiri egibavunaanibwa  kuliko  ogw'okukukusa omwana ow'emyaka 16 n'ogwokumukabasanya. Don Nasser ne Ateete emisango egibavunaanibwa singa gibasingisibwa ekibonerezo kubeera kusibwa gwa kalabba.

Oluvannyuma omulamuzi bano abongezzaayo ennaku n’addamu n’abasindika ku limanda okutuusa nga November 6, 2024 okumanya okunoonyereza ku musango we kunaabeera kutuuse.

Tags:
Don Nasser
Mawulire
Bigambo
DOn