KKOOTI ya Buganda Road esindise omuvubuka omuli w'ensimbi Nasser Nduhukire amanyiddwa nga Don Nasser asindikiddwa mu kkooti enkulu atandike n'okuwerennemba n'emisango esatu okuli okukukusa omuwala atanneetuuka n'okumutunuza mu mbuga za sitaani.

Don Nasser Ng'ali Mu Kaguli Ka Kkooti.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa Joseph Kyomuhendo ne Ivan Kyazze basabye kkooti okukyusamu ku mpaaba yaabwe omulamuzi ky’akkirizza.
Oluvannyuma bano bategeezezza omulamuzi nga bwe bamaze okukola okunoonyereza ku buzzi bw'emisango gino era ne basaba kkooti eno omuwawaabirwa asindikibwe mu kkooti enkulu atandike okuwerennemba n'emisango egimuvunaanibwa.
Obumu ku bujulizi obwesigamiziddwako nga basindika Don Nasser mu kkooti enkulu bulaze nti mu mwezi gwa May 23 ne 27, 2024 ng’ayambibwako Ateete Promise yakukusa omuwala omuto eyali asomera ku ssomero lya Kabojja International School nga ono omulawa ono ebeera ebisinga yali abeera mu ggwanga lya Qatar.
Obujjulizi obulala bulaga nga Don Nasser omuwala ono yamutwalangako ku Tagore Living Apartment esangibwa ku Luguudo lwa Kayunga eno gye yamuweera ebiragalalagala era nga yatoloka kuva waka nga yakozesanga mukutu gwa Snapchat okwogerezeganya ne Ateete eyamuyunga ku Nasser.
Ateete oluvannyuma yalaba kojja w'omwana ayitibwa Prosper Akankwasa n'amugamba nti Nasser ye yali naye era ono yakubira Nasser n'amugamba yeesonyiwe omwana kuba yali muto nnyo.
Obujulizi obulala obuleeteddwa bulaze ebbaluwa omwana gye yawandikira taata we nga yeetonda era nga mu bbaluwa omwo mwe yateeka n’engeri gye yasisinkanamu Nasser na buli kimu bwe kyali.
Omulamuzi wano w’asinzidde n'asindika Nasser mu kkooti enkulu ate ye Ateete Promise gw’avunaanibwa naye eyeeyimirirwa n’amulagira okweyanjula ku kkooti nga December 2,2024.