Amawulire

Don Nasser bamwongeddeyo mu kkooti Enkulu attunke n'egy'okutunuza omuwala mu mbuga ya sitaani

KKOOTI ya Buganda Road esindise omuvubuka omuli w'ensimbi  Nasser Nduhukire amanyiddwa nga Don Nasser asindikiddwa  mu kkooti enkulu atandike n'okuwerennemba n'emisango esatu

Don Nasser bamwongeddeyo mu kkooti Enkulu attunke n'egy'okutunuza omuwala mu mbuga ya sitaani
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

KKOOTI ya Buganda Road esindise omuvubuka omuli w'ensimbi  Nasser Nduhukire amanyiddwa nga Don Nasser asindikiddwa  mu kkooti enkulu atandike n'okuwerennemba n'emisango esatu okuli okukukusa omuwala atanneetuuka n'okumutunuza mu mbuga za sitaani.

Don Nasser Ng'ali Mu Kaguli Ka Kkooti.

Don Nasser Ng'ali Mu Kaguli Ka Kkooti.

Don Nasser akomezeddwawo mu kkooti mu maaso g'omulamuzi Sanula Namboozo abadde atuuliddemu omulamuzi  Ronald Kayizzi atabaddeewo.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa Joseph Kyomuhendo ne Ivan Kyazze basabye kkooti okukyusamu ku mpaaba yaabwe omulamuzi ky’akkirizza.

Oluvannyuma bano bategeezezza omulamuzi nga bwe bamaze okukola okunoonyereza ku buzzi bw'emisango gino era ne basaba kkooti eno omuwawaabirwa asindikibwe mu kkooti enkulu atandike okuwerennemba n'emisango egimuvunaanibwa.

Omulamuzi azzeemu buto n'asomera Don Nasser emisango n'obujulizi oludda oluwaabi bwe lugenda okwesigamako nga bawoza omusango guno. 

Obumu ku bujulizi obwesigamiziddwako nga basindika Don Nasser  mu kkooti enkulu bulaze nti mu mwezi gwa May 23 ne 27, 2024 ng’ayambibwako Ateete Promise yakukusa omuwala omuto eyali asomera ku ssomero lya Kabojja International School nga ono omulawa ono ebeera ebisinga yali abeera mu ggwanga lya Qatar.

Obujjulizi obulala bulaga nga Don Nasser omuwala ono yamutwalangako ku Tagore Living Apartment esangibwa ku   Luguudo lwa Kayunga eno gye yamuweera ebiragalalagala  era nga yatoloka kuva waka nga yakozesanga mukutu gwa Snapchat okwogerezeganya ne Ateete eyamuyunga ku Nasser.

Ateete oluvannyuma yalaba kojja w'omwana ayitibwa Prosper Akankwasa n'amugamba nti Nasser ye yali naye era ono yakubira Nasser n'amugamba yeesonyiwe omwana kuba yali muto nnyo.

Obujulizi obulala obuleeteddwa bulaze ebbaluwa omwana gye yawandikira taata we nga yeetonda era nga mu bbaluwa omwo mwe yateeka n’engeri gye yasisinkanamu Nasser na buli kimu bwe kyali.

Omulamuzi wano w’asinzidde n'asindika Nasser mu kkooti enkulu ate ye Ateete Promise gw’avunaanibwa naye eyeeyimirirwa  n’amulagira okweyanjula ku kkooti nga December 2,2024.

Tags:
Don Nasser
Muwala
Kkooti
Nkulu
Kusindika