Omudigize w'omu Kampala amanyiddwa nga Don Nasser ebibye biwanvuye Ssaabawaabi wa gavumenti bw’amuguddeko omusango omulala ku bigambibwa nti yakwata omwana atanneetuuka.
Nasser yakwatibwa ku bigambibwa nti yakwata omwana atanneetuuka ono ng’avunaanibwa ne Promise Ateete 19, okola obwakiyambi mu yafeesi y’omubaka mu munisipaali ya Ntungamo Yonna Musinguzi.

Don Nasser Ne Promise Ateete Mu Kaguli Ka Kkooti (2)
Oluteteddwa mu kkooti omuwaabi wa gavumenti n’ategeeza kkooti nga bwe yakoze ennongoosereza mu mpaaba ya kkooti ku misango egivunaanibwa ababiri bano era okukkakkana nga babongeddeko omusango ogw'okusatu.
Omusango ogugattiddwako kigambibwa nti Ateete yayambako okuleeta omwana ali wansi w’emyaka 18 eri Nasser okumukozesa ebikolwa eby'omukwano bino nga byabeerawo mu mwezi gwa May 3, 2024 ku luguudo lwa Acacia e Kamwokya mu disitulikiti y’e Kampala.
Emisango emirala ebiri egibavunaanibwa kuliko ogw'okukukusa omwana ow'emyaka 16 n'ogwokumukabasanya. Don Nasser ne Ateete emisango egibavunaanibwa singa gibasingisibwa ekibonerezo kubeera kusibwa gwa kalabba.
Oluvannyuma omulamuzi bano abongezzaayo ennaku n’addamu n’abasindika ku limanda okutuusa nga November 6, 2024 okumanya okunoonyereza ku musango we kunaabeera kutuuse.