Ababaka okuva mu kabondo ka Buganda basabye sipiika wa palamenti Anita Among yeetonde, olw'ebigambo bye ebyalabise nga byawulayawula mu mawanga.
Waliwo akatambi akaayiting’anye ku mikutu emigattabantu nga sipiika Anita Among mu lutuula lwa palamenti ku Lwokuna ng’aliko omukozi wa palamenti gw’abuuza ku muwendo gwa babaka, palamenti bwe yabadde esalawo ku ky’okugatta ekitongole ky'emmwaanyi ekya UCDA mu ministule y'ebyobulimi.

Ababaka Nga Boogera Mu Lukung'aana Lwa Bannamawulire.
Wakati mu bbuggumu eryabadde mu palamenti, Sipiika yawulikise ng’abuuza omu ku bakozi ba palamenti omuwendo gwe balinawo wakati w'abo abawakanya n'abawagira eky’okugatta ekitongole ky'emmwaanyi, naye eyamuzzeemu nti abakiwagira bali 80 ate abakiwakanya bali 130.
Oluvannyuma sipiika aliko ebigambo bye yamutegeezezza era yawulikise ng’ayogera ku Baganda kyokka tebyawulikise bulungi olw'okuba eddoboozi lyamaze ne liggyibwako, ekintu ekyalese bangi nga boogera ebikankana.
Kati mu lukung’aana lwa bannamawulire olwatudde ku palamenti, Ababaka abava mu Buganda baasabye sipiika Anita Among yeetondere Obuganda n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu olw'okusiga obukyayi n'okwawulayawula mu mawanga.
Ssentebe wa Kabondo ka Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi ategeezezza nga ebigambo bya Sipiika bwe byabaleze nti etteeka liriko eggwanga lye litunuulidde era n’ategeeza nga bwe litalina kukubwako birowoozo mu palamenti olwokuba limenya ssemateeka.
Bagenda kutuuza olukung’aana lwa babaka okuva mu Buganda ku Lwokubiri basalewo ekyenkomeredde ku nsonga eno ssinga sipiika aba tannabeetondera.
Kyokka waliwo ebbaluwa eyafulumiziddwa akulira eby’amawulire ku palamenti Chris Obore nga ategeeza nga akatambi akayiting’anye ku mikutu emigattabantu bwe kataggyaayo bulungi bigambo bya Sipiika era nti abateebereza bye yabadde agamba omukozi wa palamenti beenonyeza byabwe.