Amawulire

Bambega ba poliisi bongedde okunyiga abanene

BAMBEGA ba pollisi leero lwe batandika okukunya abakozi ba Palamenti ab’enjawulo n’abamu ku babadde bakola mu maka g’abadde Sipiika Annet Anita Among.

Poliisi mu maka ga muganda wa Among (mu katono), Ziporha Akola nga bagenda okugaaza.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BAMBEGA ba pollisi leero lwe batandika okukunya abakozi ba Palamenti ab’enjawulo n’abamu ku babadde bakola mu maka g’abadde Sipiika Annet Anita Among.
Wabula okunoonyereza tekugenda kukoma ku Among, n’abakozi mu ofiisi y’abadde omumyuka we Thomas Tayebwa nabo baakukola siteetimenti ku nguzi egambibwa nti ebadde yeegiriisa.
Ensonda zaategezezza nti ku bamu ku baayitiddwa kuliko n’omwogezi wa Palamenti, Chris Obore, akulira ebyensimbi n’entambuza y’emirimu, Patrick Kunobwa n’akulira ebyentambula Henry Waiswa. Abalala kuliko; akulira pulotoko Daniel Adilo, Charles Lwanga, Rajab Kaya n’abalala.
Mu ofiisi ya Tayebwa, baayise akulira ebyenzirukanya y’emirimu Louise Bakyenga kuba yandiba ng’amanyi ku mudidi ogubadde gutokomoka mu Palamenti. Kino bwe kinaaba kikoleddwa, ono y’ajja okuba nga asoose okukunyizibwa okuva mu ofiisi y’abadde omumyuka wa sipiika okuva ekiwendo ky’okufuuza enguzi mu Palamenti bwe kwatandika, kino kizingiddemu okubowa mmotoka ze eziwerako n’okulumba amaka ga Among agali mu Kampala, Bukedea ne Buyende.
Bambega baategeezezza nti abo abakooneddwaako, amannya gaabwe kigambibwa nti gaalabikira nnyo mu kutambuza ssente ezimu nga ziyita ku akawunti zaabwe ku biragiro bya Among.
Abalala abasuubirwa okuzingirwamu be baali bakamisona ba Palamenti okuli; Solomon Silwany, Esther Afoyochan, Prossy Mbabazi Akampurira ne Mathias Mpuuga abeegabira akawumbi kalamba n’obukadde 700 nga Mpuuga yatwalako obukadde 500 ate banne ne batwalako okukadde 400 buli omu.
Kyokka we twagendedde mu kyapa, nga tetunnamanya oba nabo baakweyanjula leero. Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza nti n’ababaka ba Palementi abalala baakuyitibwa babeeko bye babitebya.
EBYABADDEWO NGA BAMBEGA BAYAZA AMAKA GA AMONG AG’OMU KYALO
Ku Lwokutaano oluwedde, bambega ba poliisi n’amagye baalumbye amaka ga Among mu ggombolola y’e Kamutur mu disitulikiti y’e Bukedea ne bongera okufuuza obujulizi obumuluma.
Kyokka nga bano tebannagendayo, amagye gaali gassibwa ku maka gano okugakuuma okuva olunaku abeebyokwerinda lwe baatandika ebikwekweto ku Among nga balumba amaka ge ag’e Nakasero ne Kigo.
Emmotoka z’abeebyokwerinda 7 nga kuliko ne ‘kadenge’ ezeerulira ekkubo, zaatuuse mu maka gano ku kyalo Aputput, mu muluka gw’e Aerere ku ssaawa nga 3:30 ku makya era abeebyokwerinda ne batandika ogwabwe. Abatuuze abaabadde ewalako nga balengera baabadde beewuunya ekituuse ku maka g’omuntu waabwe abadde omunene mu ggwanga ng’ate alumbiddwa mu mbeera erabika nga ya bukambwe.
Abeekyokwerinda tebaakomye mu maka ga Among gokka, baalumbye n’aga muganda we wamu nnyina okubaako bye banoonya.
Ku Lwomukaaga, bambega baasazeeko eddwaaliro lya Among n’essomero lye era Bukedea Comprehensive naye tekyategerekese oba waliwo ebyaggiddwaayo ebyekuusa ku nguzi. Kigambibwa nti balina bbaasi n’emmotoka endala eza Palamenti ezaasangiddwaayo era ne ziggyibwayo.
Ebikwekweto bino byonna ku Among byatandika ku Lwomukaaga nga May 16. Bano kigambibwa nti baawa Pulezidenti Museveni ku bye baali balabye ewa Among nga byewuunyisa nti Pulezidenti kwe kubalagira okugenda mu maaso n’ekikwekweto kino n’okubowa ebyobugagga bye.
Mu baaweebwa obuvunaanyizibwa okuggusa omulimu guno mulimu; kaliisoliiso wa Gavumenti, akulira akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’Obwapulezidenti, poliisi, ISO n’ekitongole ekirondoola entambuza ya ssente ekya Financial Intelligence Authority. Mu kiragiro kino mwe mwava nga May 18 abeebyokwerinda okugenda mu maka ga Among e Kigo ne babowa emmotoka ze bbiri okwali ne Rolls-Royce ne Range Rover ezaatwalibwa ku kitebe kya poliisi e Naggulu. Abeebyokwerinda era baalumba n’amaka ga Among e Nakasero ne babowa mmotoka ze nnya ez’ebbeeyi nazo ne zitwalibwa e Nag