Okuwulira Obujulizi mu gwa Sipapa kuddamu mwezi gujja

Oct 30, 2024

OKUWULIRA obujulizi mu gwa Sipapa kuddamu November 12,2024

NewVision Reporter
@NewVision

Omulamuzi Micheal Elubu owa kkooti Enkulu mu Kampala ayongezzaayo okuwulira obujulizi mu musango oguvunaanibwa Charles Olimu amanyiddwa nga Sipapa ne mukazi we Shamirah Nakiyemba kisobozese oludda oluwaabi okuleeta abajulizi abalala.

Olwaleero omujulizi ow’okutaano Pius Caningom omukugu mu kwekebejja ebinkumu amalirizza n'akkaatiriza nti byonna bye yayanjulidde kkooti bituufu omutali bulimba bwonna.

Sipapa Ne Mukazi We Shamirah Mu Kaduukulu Ka Kkooti Enkulu

Sipapa Ne Mukazi We Shamirah Mu Kaduukulu Ka Kkooti Enkulu

Caningom 60 ,yagambye nti aweerezza mu poliisi okumala emyaka 35 okutuusa lwe yawummula era mukugu mu gw'okukebera ebinkumu nga y'akulira ettabi lya Criminal Identification wansi wa Directorate of Forensic Services ku kitebe kya poliisi e Naguru.

Ono yagambye nti nga September 1,2022 baafuna obujulizi bw'ebinkumu okuva Ku poliisi e Kabalagala nga bagaala bakebere oba bikwatagana n'ebimu Ku byali bifuniddwa Ku Bantu okwali Olimu Charles Sipapa eyali agambibwa okumenya ennyunba n'okubba ssaako ebya Kualy Steven Ateng ,Awur Makeer, Prisillar Adon,Mary Ateng ,Gloria Opedgui,Tabitha Ajah,Chol Ateng,Jacob Nul abaali babeera mu maka agaamenyebwa.

Yayongeddeko nti baabiwandiika ku ffoomu ya poliisi nnamba 20 ssaako foomu nnamba 51G gye bassaako ebinkumu bya Sipapa ebya tebirabika bulungi nga byetaaga okuteekebwa mu kyuma byongere okutangaazibwa olwo byekebejjebwe bulungi.

Caningom yagambye nti ebinkumu bye yeekebejja kwaliko ekyaggyibwa mu maka awazzibwa omusango era engalo erina enkovu nti kyakwatagana bulungi n'engalo ya Sipapa gye baakwata ku kkompyuta nayo eriko enkovu.

Sipapa ne Shamirah bavunaanibwa emisango 13 egy’obwakkondo n’okukyanga ssente ezifuniddwa mu bumenyi bw'amateeka.

Oludda oluwaabi nga lukulemberwa Edward Muhumuza ng’ayambibwako Timothy Amerit n'abalala ate Sipapa awolerezebwa Susan Wakabala n'abalala.

Oludda oluwaabi lugamba nti Jacob Arok Mayendit munnansi wa Sudan nga August 12,0222 yatunda ettaka lye erisangibwa ku plot 48 ne 49 block 111 Hai Jakokwe mu Class Area e Sudan ku ddoola 380,000 era n'ajja mu Uganda obuguzi gye bwakomekkerezebwa era ssente ne bazigulamu ebintu eby'enjawulo.

Kumakya nga August 29, 2022 ffamire eno nga bali mu maka gaabwe e Buziga Makindye kigambibwa nti baazuukuka ne bazuula ng'ebintu byabwe okuli amasimu, laptop n'ebirala byabbiddwa nga nabo tebeewulira bulungi.

Oludda oluwaabi lugamba nti Sipapa nga August 30,2022 e Nateete ku T.I PRO Audio International Uganda n'ekigendererwa eky'okubuzaabuza ensibuko ya ssente za ddoola emitwalo (USD 200,000) yaziwa Zhen Hua Hong Jie international Trading Co mu bbanka ya Citibank ng'ayagala bamugulire ebyuma ebikuba omuziki ng'ate akimanyi bulungi ssente zino za buzzi bwa misango.

Bano era kigambibwa nti baabuzaabuza ensibuko ya ssente obukadde 110 nga August ,2022 n'emmotoka Jeep Wrangler ng'akimanyi era ng'alina ensonga okukimanya nti za buzzi bwa misango. Emisango kigambibwa nti baagizza nga August ,2022 mu maka gaabwe e Buwaate Najera.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});