NNAALONGO eyazaala ebbali abaana, mu maka ga Ssaalongo Micheal Kasawuli (Samona) ne batabuka, amufukamizza, Samona bw’amuzimbidde ennyumba amatiribona.
Nnaalongo Rosemary Nantume, bw’omwogerako ng’eyanaazibwa olweza ne lunoga obeera tolimbye. Samona yamusuulawo emyaka 11, kyokka amuzimbidde amaka agatemya ng’omuntu ku kyalo Kibanga mu ggombolola y’e Kammengo mu disitulikiti y’e Mpigi.
Gano yagamukwasizza mu butongole ku Ssande ku mukolo ogwetabiddwaako abooluganda n’emikwano nga gwakulembeddwa ekitambiro kya Mmisa eyakulembeddwaamu Fr. Jude Kyagulanyi.
Fr. Kyagulanyi yeebazizza Samona olw’okuzimbira Nnaalongo ennyumba ate n’okubeera n’omutima ogusonyiwa.
Fr. Kyagulanyi yakubirizza abantu bulijjo okubeera n’omutima ogusonyiwa nga waliwo ababasobezza n’abajjukiza nti okunyiiga kya butonde kyokka tetulina kusiba busungu ku mitima.
Oluvannyuma Nnaalongo ne Ssaalongo baakulembeddemu Fr. Kyagulanyi okumulambuza ennyumba nga bw’agimansira amazzi ag’omukisa munda n’ebweru.
Nnaalongo eyabadde abugaanye essanyu nga tannayogera, DJ yasoose kuteekamu kayimba k’omuyimbi Stabua Natoolo aka ‘Oli wa mukisa’, olwo Nnaalongo n’asumulula amazina nga bw’ayita mu kidaala olwo abagenyi ne bamuwereekereza engalo n’akaluulu.
Bwe yatuuse okwogera, yafukamidde nga Ssaalongo bw’amuyimiridde ku bbali.
“Nsooka okwebaza Katonda olw’olunaku luno, nzizaako maama wange olw’okunzaala, baffaaza bange ne Ssaalongo wange omulungi. Bannange amaka gali gabadde ga baakika ky’abaana bange, kati gano gange era mutuule ntende. Gano gange bwoya, ndi bulungi sirina buzibu era temuluwooza nti Nnaalongo wammwe alina obuzibu naye ndi musanyufu...” Nnaalongo bwe yategeezezza.
Yagasseeko nti, “Okumanya ebintu byakyuka ne Ssaalongo abadde alina okunkyusa nga mukyala mukulu nfune ewange, wali wa kika mbadde sisobola kwegazaanyizaawo bulungi munsaasire.
Omwami wange era taata w’abaana nkwebaza olw’okunzigya ku luggya ate nkwebaza olw’okunzimbira amaka ag’ekitiibwa era nneebaza abantu mwenna ab’oku kyalo kino,’’ Nnaalongo Samona bwe yategeezezza.
Ye Samona, obubaka bwe yabuyisizza mu nnyimba. Yategeezeza nti amaka gano agazimbye ku lw’abaana be ne Nnaalongo awatali kakwakkulizo konna era talina kkonda ku muntu yenna kubanga ye musajja mulokole.
Oluvannyuma yakwasizza Nnaalongo ebisumuluzo by’ennyumba eno mu butongole ne basala kkeeki nga bali wamu ne Fr. Kyagulanyi ne bagabula abagenyi baabwe.
EBYALIWO OMWAKA OGUWEDDE
Mu May w’omwaka oguwedde, Nnaalongo Nantume yavaayo n’alumiriza Ssaalongo Kasawuli okumusindikira bakanyama mu maka ge ku kyalo Sigi mu muluka gwe Kibanga ne bakkakkana ku mmere ye okuli ebitooke, muwogo, lumunde ne kasooli ne babisaawa.
Yategeeza nti Ssaalongo yali amaze emyaka 10 nga talinnya mu maka gano ssaako obutamuwa buyambi n’abaana be.
Yategeeza nga bwe yatoba ne Ssaalongo okuva mu buvubuka kyokka n’amwefuulira ng’amaze okumugaggawaza n’asalawo okumusuula mu kyalo.
Wabula oluvannyuma ebintu byakyukira Nnaalongo, ebyama bwe byavaayo ku nsonga eyamutabula ne Ssaalongo nga biraga nti alina abaana babiri be yazaala ebbali w’obufumbo nga kino Samona okukikakasa yamala kutwala baana be bonna okubakebeza endagabutonde (DNA) ng’ababiri aba Nnaalongo ekyuma kyabawandula.
Kyokka Nantume mu kwewozaako yategeeza ng’ensonga zino bwe zaali ezaabwe ng’abafumbo era nga baazikkaanyaako Ssaalongo n’amusonyiwa ne bazaala n’abaana abalala. Olw’obusungu nga Samona akizudde nti abaana abamu si babe, Nnaalongo yamuggyako n’obuvunaanyizibwa bw’okusolooza amaduuka n’ennyumba z’abapangisa ezisangibwa ku kyalo Kibanga mwe yali aggya ssente ezimulabirira n’abaana be.
Maama wa Nnaalongo, Margret Namukasa yategeezezza nti Samona yawasa muwala we nga wa myaka 16, ne batoba bonna okukola obugagga