Amawulire

Pulezidenti Museveni yeeyamye okulabirira famire ya Tamale Mirundi

PULEZIDENTI Museveni yeeyamye okulabirira ffamire y’omugenzi Tamale Mirundi n’asuubiza n’okuweerera abaana beyaleka nga bakyali bato okutuusa nga bamaze okusoma.

Tamale Mirundi Jr ne famire mu kujjukira obulamu bwa kitaawe
By: Mutebi Joseph, Journalist @New Vision

PULEZIDENTI Museveni yeeyamye okulabirira ffamire y’omugenzi Tamale Mirundi n’asuubiza n’okuweerera abaana beyaleka nga bakyali bato okutuusa nga bamaze okusoma.

          Bino byabadde mu bubaka bwa Pulezidenti Museveni bweyatisse omumyuka wa Katikkiro asooka Rebecca Kadaga eyagenze mu maka g’omugenzi Tamale e Kyengera  ku Ssande aga maama wa Tamale Mirundi Junior mu kitambiro kye mmissa mwebabadde bajjukira omuntu waabwe ebirungi bye yakola ng’akyali mulamu.

Nnamwandu wa Tamale Mirundi Florence Namayanja era nga ye maama wa Tamale Mirundi Jr ng'afukamidde wansi okwebaza abantu olw'okubaawo mu kujjukira omugenzi Tamale Mirundi

Nnamwandu wa Tamale Mirundi Florence Namayanja era nga ye maama wa Tamale Mirundi Jr ng'afukamidde wansi okwebaza abantu olw'okubaawo mu kujjukira omugenzi Tamale Mirundi

          Kadaga yagambye nti Pulezidenti yeeyamye okuwa ngaayo ne bannamwandu abatongole akassente okusobola okulabirira amaka gaabwe ssaako n’okutwala Tamale Mirundi Junior okweyongerayo okusoma mu mawanga g’e bulaaya mu bwangu.

          Tamale yafa nga August/13/2024 mu ddwaaliro lya Kisubi ku lw’e Ntebbe era naziikibwa nga August/18/2024 ku kyalo  Matale Kalagala mu Kabuga k’e Kalisizo mu distulikiti y’e Kyotera.

Omukolo guno gwetabiddwako abanene bangi okwabadde akulira offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo, RDC wa Wakiso Justine Mbabazi, Dr. Kruthum Nabunya, abayimbi okuli Ameria Nambaala, YK Benda, Bruno K, Miles Rwamiti alamuza ekifo ky’omubaka wa Nakawa West, Sseruga Matovu, Justine Nameere  n’abalala.

Namyalo nga y’omu ku basinze okuteeka amaanyi mu mukolo guno omuli ebintu ebikalu ne ssente mu mpeke yagambye nti Tamale yali musajja ayimirira ku mazima era nze bwe bali bakankwasa offiisi eno yajja n'angamba nti ensonga lwaki ndi wano kubanga maze okwetegereza nga byokola bibeera birambulukufu.

Akulira office ya ssentebe wa NRM Hadijah Namyalo ng'ayogera

Akulira office ya ssentebe wa NRM Hadijah Namyalo ng'ayogera

Yagambye nti wadde Tamale yafa naye nnasigala nga ntambula ne ffamire eno naddala mutabani we Tamale Junior ne nnyina Florence Namayanja.

Nnamwandu Namayanja yeebazizza abali mikwano gya bba Tamale okubeera nga bakyakumye omukwano gwe balina ku bba ne ffamire yonna n’okutuusa kati wadde wayisse emyezi esattu nga yafa.

“Wadde bba wange yafa naye sinnategera nti oba ndi nnamwandu kubanga abantu abali mikwano gye mu butuufu bambereddewo ne ffamire yaffe yonna era nsaba mugende mu maaso nga mutwagala n’okusingawo” Namayanja bweyategezezza.

Tamale Junior ye bazizza nnyo abantu abababeereddewo mu kaseera kano bukyanga kitaawe afa wabula yebazizza nnyo akensusso ba ssenga be okuli Josephine Namugerwa, Prossy ne Lillian  ssaako kitaawe  Musa ow’e Butambala ne ba jjajja be okuli  Aisha Kireka ne Slyvia ababaddewo mu kusaba okujjukira omwoyo gwa kitaawe Mirundi.

“Ba ssebo ne bannyabo ababadde bagamba nti bangoba mu kika kati bano aba ssenga, taata neba jjajja abazze bo si bakika kyange?