Abantu 16 basimattuse akabenje ka bbaasi

AKABENJE kaagudde ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara bbaasi ya kkampuni ya Modern Coaches nnamba F 5931A eyabaddemu abasaabaze 27 bwe yalemeredde omugoba waayo n’agikuba ekigwo ekyagiwaludde ku ttaka abantu 16 ne bafuna ebisago eby’amaanyi

Bbaasi nga bamaze okugiggya ku ttaka we yagudde.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AKABENJE kaagudde ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara bbaasi ya kkampuni ya Modern Coaches nnamba F 5931A eyabaddemu abasaabaze 27 bwe yalemeredde omugoba waayo n’agikuba ekigwo ekyagiwaludde ku ttaka abantu 16 ne bafuna ebisago eby’amaanyi. Akabenje kano kaagudde ku kyalo Kaamutuuza mu disitulikiti y’e Lwengo nga yabadde ewenyuka buweewo okukwata nnamba mu kibuga ky’e Bujumbura.
Ddereeva wa bbaasi eno, Erastus Amata 67, agambibwa okuba nga yabadde yeesiye amagengere ate ng’ali mu tulo, yeekanze ttuleera ng’ayingira ekkoona, mmotoka
n’emulemerera n’agikuba ekigwo.
Abantu 16 okuli ddereeva yennyini baatwaliddwa mu malwaliro nga bataawa. Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Twaha Kasirye yategeezezza nti abaalumiziddwa
kuliko; Erisa Ngabirano 19, AtanaziaMukamulamuzi 57, Erastus Amata 67 (ddereeva) n’abalala. Bo abeerabiddeeko n’agaabwe, akabenje  baakatadde ku ddereeva gwe baagambye nti alabika yabadde mu tulo ne basaba poliisi y’oku nguudo
ebateerewo obupande ku kkoona lino erifuuse akattiro ate n’oluguudo lugaziyizibwamu.