Omukazi ow'emyaka 31 agambibwa okuyiira omwana ow'emyaka 12, amazzi agookya n'amulumya, akwatiddwa poliisi e Ntebe.
Winnie Nakimbugwe 31, ow'e Nkungulutale e Kajjansi, mu disitulikiti y'e Wakiso, y'akuumirwa mu kaduukulu e Ntebe, ku bigambibwa nti yayiiridde omwana owa P6 mu Sharpkids P/S olwegye lw'amazzi mu kifubo n'omugongo, n'amuleka mu bulumi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango agambye nti abatuuze bagezezzaako okumukuba nti kyokka poliisi n'emubaggyako ne bamuggalira.