Minisitule y'ebyenjigiriza ategeezezza nti abazadde tebagenda kuddamu kusasula ssente mu masomero ga gavumenti!

MINISITULE y’ebyenjigiriza etegeezezza nga bw'egenda okuwaayo trillion 1 n’obuwumbi 400 okulaba nga ebyenjigiriza mu pulayimale ne sekondale bya bwereere okusobola okumalawo omuze gw’okuduumula ebisale ebissukkiridde mu masomero ga gavumenti agamu.

Minisitule y'ebyenjigiriza ategeezezza nti abazadde tebagenda kuddamu kusasula ssente mu masomero ga gavumenti!
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
#Amawulire #Palamenti #Minisita Ogwanga #Masomero #Kusasuza #Bazadde gavumentro

MINISITULE y’eby’enjigiriza etegeezezza nga bw'egenda okuwaayo trillion 1 n’obuwumbi 400 okulaba nga ebyenjigiriza mu pulayimale ne sekondale bya bwereere okusobola okumalawo omuze gw’okuduumula ebisale ebissukkiridde mu masomero ga gavumenti agamu.

 

Bino bitegeezeddwa minisita omubeezi ow'ebyemizannyo, Peter Ogwang bw'abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola eddembe ly’obuntu okunnyonnyola ku kwemulugunya ku kutyoboola eddembe okwalambikibwa mu alipoota y’akakiiko k’eddembe ly’obuntu 2024.

Akakiiko K'eddembe Ly'obuntu Nga Katudde.

Akakiiko K'eddembe Ly'obuntu Nga Katudde.

Wabaddewo okwemulugunya kungi mu bazadde ku bisaale bye bababinika okuyambako mu kufuna abasomesa wamu n’okulaakulana.

 

Wabula, kati minisita Ogwang agambye nti ebyenjigiriza bigenda kubeera bya bwereere kubanga ensimbi zino zitekeeddwawo okutuuka omwaka gw’eby’ensimbi 2027/28 nti naye y’omu ku babadde basasulira ab’enganda ffiizi nga zibadde zimutuulamu.

Minisita Ogwang Ng'annyonnyola akakiiko.

Minisita Ogwang Ng'annyonnyola akakiiko.

Ssentebe w’akakiiko kano, Fox Odoi asabye minisitule okunnyonnyola ddi lwe baleeta ennongoosereza mu tteeka ly’eby’enjigiriza okulaba nga ensonga eno erambikibwa bulungi era nga minisita Ogwang ategeezezza nti baatandise dda okukola okwebuuza.