Balabuddwa ku kukoppera abayizi

EKIBIINA ekivunaanyizibwa ku bigezo mu masomero g’Obusiraamu kirabudde abakulira amasomero okwewala okukoppera abayizi mu bigezo ebitandika leero.

Dr. Sheikh. Harunah Jjemba
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKIBIINA ekivunaanyizibwa ku bigezo mu masomero g’Obusiraamu kirabudde abakulira amasomero okwewala okukoppera abayizi mu bigezo ebitandika leero.
Dr. Sheikh Haruna Jjemba Abdul Hamid akulira Uganda Quran schools Association Examination Board (UQSAEB) yagambye nti amasomero aganaakwatibwa, ebifo byabwe bya kusazibwamu obutaddamu kutuulirawo bigezo.
Abayizi 8,770 okuva mu masomero 437 be bakakasiddwa okutuula ebigezo omwaka
guno mu bifo 380 nga bano beeyongeddeko abayizi 1,285 okusinga ku baatuula omwaka
 guwedde.
Dr. Sheikh Haruna Jjemba mu lukung’aana lwa bannamawulire olwatuuziddwa ku kitebe
kyabwe ku Old Kampala eggulo, yagambye nti abayizi baakutandika n’ekigezo ky’olulimi oluwalabu ku makya ate olweggulo bakole Tarubia ate ku Lwokuna bajja kukola Quran n’amateeka gaayo ku makya ate olweggulo bakole Fiqih oba amateeka g’Obusiraamu.
Yagasseeko nti bataddewo abasomesa abakugu 380 abagenda okutalaaga amasomero gonna mu ggwanga we bakolera ebigezo okukakasa nti buli kimu kitambula bulungi n’alabula abakulu b’amasomero okwewala okukoppera abayizi kubanga  bataddewo ebibonerezo ebikakkali eri abanaakwatibwa