AKAKIIKO ka bannamateeka ak’ekibiina kya NRM akawuliriza okwemulugunya kw’abataamatira na byava mu kulonda abanaakwatira ekibiina kino bendera mu 2026, kagobye omusango gw’eyali avuganya okukwata bendera y’ebizinga by’e Buvuma.
Akakiiko kanywezezza obuwanguzi bw’omubaka aliyo kati Robert Migadde Ndugwa. Omusango guno gwawaabwa Adrian Wasswa Ddungu nga yafuna olululu 6,262 ng’awakanya obuwanguzi bwa Migadde eyafuna obululu 22,454.
Mu musango guno, akakiiko keetegerezza obujulizi obwaweebwayo ne kayita Ddungu ne Migadde buli omu n’awulirizibwa okusobola okufuna ensala ey’amazima. Ddungu yali alumiriza Migadde okwenyigira mu kubba obululu, okugulirira abalonzi n’okuba nga mu bifo ebimu gye baamulonda tebaagoberera lijesita nga amateeka ga NRM bwe galambika.
Yali alumiriza nti Migadde yakozesa abeebyokwerinda omuli n’omumyuka wa RDC mu kitundu okutiisatiisa n’okutulugunya abawagizi be ne babalemesa okulonda ng’ayagala akakiiko kasazeemu obuwanguzi bwa Migadde kategeke okulonda okulala.
Kyokka akakiiko omusango guno kaagugobye era ne kanyweza obuwanguzi bwa Migadde. Ensala y’omusango guno eyatereeddwaako emikono okuli ogw’akakulira Martin Mbanza Kalemera, Keneth Kipaalu ne Deborah Nshemereirwe ne bategeeza nti obululu 16,162 Migadde gwe yasinga Ddungu bungi nnyo nga ne bwe wabaawo obumulumulu obwalimu, tebusazisaamu buwanguzi.
N’eky’okuba nga Migadde yayambibwako abeebyokwerinda, tekyali kituufu kuba Ddungu tayalina bujulizi bumal