AKULIRA ekitongole ekivunaanyizibwa ku nnyonyi mu ggwanga, Jennifer Bamutulaki asambazze ebitambuzibwa mu mikutu emigattabantu nti ennyonyi za Bombardier si nnungi kutambuliramu n’agamba nti abasaasaanya kalebule ono beenonyeza byabwe na kwagala kuttattana kifaananyi kya ggwanga.
Bino abyogedde bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti mw’ategeerezza ababaka nti mu myaka etaano Uganda Airlines gy’ebaddewo, basobodde okukung’aanya omusolo gwa trillion nnamba nga eno eyambyeko mu kukulaakulanya eggwanga.
Bamutulaki agambye nti kyennyamiza kuba bafuba okulaba nga buli kimu kya mutindo gwa nsi yonna wabula nga ate ekyennyamiza bannansi bennyini abamu be baagala okusuula ekiyamba eggwanga lyabwe nga bogera kalebule.
Agambye mu 2019 nga baakatandiika bakola obuwumbi 28 n’obukadde 500 wabula nga kati bongedde okukula n’okukung’anya ensimbi eziwera nga mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde baakola trillion 1 n’obuwumbi 200 era nga n’abasaabaze balinnye okuva ku 71,000 nga mu 2024 baali 419,170.
Mu nsisikano y’emu, akulira bayinginiya, Peter Amuge naye asambazze ebyogerwa nti ennyonyi za bombardier si nnungi kutambuliramu olw’okuba nti tewali sipeeya waazo n’agamba nti sipeeeya waali ku katale wabula ng’olina okulinda ennaku 300 okumufuna okuva w’omutumizza.