Aba Uganda Airline batandise kaweefube w'okuyonja ekisaawe

Apr 10, 2025

Nga Uganda yeetegekera okugula ennyonyi endala okuli nezi Lugogoma, ab’ekitongole ekiddukanya entambula z’ennyonyi ekya Uganda Airlines batandise kaweefube w’okwewala obubenje bwazo nga bayoola kasasiro asikiriza ebinyonyi mu bitundu ebyetoolodde ekisaawe kya Entebbe International Airport.

NewVision Reporter
@NewVision

Nga Uganda yeetegekera okugula ennyonyi endala okuli nezi Lugogoma, ab’ekitongole ekiddukanya entambula z’ennyonyi ekya Uganda Airlines batandise kaweefube w’okwewala obubenje bwazo nga bayoola kasasiro asikiriza ebinyonyi mu bitundu ebyetoolodde ekisaawe kya Entebbe International Airport.

Nga bayita mu pulojekiti gye baatandikawo eya ‘Flight Path Sustainability Project’, bagamba nti okwewala kasasiro ku nguudo n’ebitundu ebyetoolodde ekisaawe kijja kukendeeza omuwendo gw’ebinyonyi ebyetawulira mu bbanga ebisobola okuvaako obubenje bw’eyonyi nga zibitomedde.

Bagamba nti kasasiro n’ebigumba ebiva mu byennyanja mu bitundu omuli abavubi okwetooloola ennyanja Nalubaale bisikiriza ebinyonyi okwetawulira mu bbanga nga kya bulabe nnyo singa zibitomera.

Okuyonja

Okuyonja

Kampeyini y’okugogola n’okumanyisa abatuuze baagitandikidde mu kabuga ke Kigungu nga begattiddwako abayizi b’amasomero okuyoola kasasiro.

Shakilah Rahim omukwanaganya wa Uganda Airlines n’abantu ba bulijjo n’ebitongole ye yakulidde kkampeyini eno omwabadde n’okusomesa abantu ku bulabe obuli ku binyonyi okutomeragana n’ennyonyi nga bizze okunoonya eky’okulya mu kasasiro.

“Ekitundu ky’Entebe kirimu emirimu gy’okuvuba mingi ng’ebiva mu byenyanja bisikiriza nnyo ebinyonyi nga Kalooli, Ensega, Namugoona n’ebirala okuva ku Mabanda ebyettanira ennyama okwetawulira mu bbanga era singa ennyonyi zibitomera ne biyingira mu biwawaatiro olwo ng’akabenje ddekabusa katuuse,” Shakilah bwe yalambise.

Yagumizza abatuuze nti baakukolera wamu nabo okutumbula enkwata ya kasasiro mu kitundu.

“Pulojekiti eno twagitongoza mu 2022 ng’etunuulidde okukendeeza ebitundu 40 ku buli 100 omuwendo gw’ebinyonyi mu bitundu ebyetoolodde Ntebe naddala awabuukira ennyonyi n’okugwa. Tujja kuyamba abatuuze okukola eby’omugaso mu kasasiro ono era bafune n’emirimu,” Shakilah bwe yakkaatirizza.

Okulongoosa omwalo gwe Kigungu aba Uganda Airlines bagamba nti kwakulobwanga Olw'omukaaga lumu buli mwezi.

Bwe yabadde atongoza olugendo lw’ennyonyi ezigenda obutereevu mu London okuva e Ntebe, minisita w’entambula n’emirimu, Edward Katumba Wamala yategeezezza nti gavumenti etandise kaweefube okugula n’okupangisa ennyonyi endala zi Lugogoma okwongera okutumbula ekitongole kya Uganda Airlines okusaabaza abantu, emigugu n’ebyamaguzi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});