NNAGGAGGA Sudhir Ruparelia abbudde mu mutabani we Rajiv Ruparelia ekizimbe galikwoleka eky’emyaliiro 19, kye yazimbye ku luguudo lwa Yusuf Lule road mu Kampala.
Ekizimbe kino okusoooka Sudhir yabadde akituumye Pearl Tower One, kyokka bwe yabadde akiggulawo ku Lwokubiri n’asalawo okukibbula mu Rajiv olw’amaanyi n’ebirowoozo bye yateeka mu kukizimba n’akituuma “RR Pearl Tower One”.
Ekizimbe Sudhir Kye Yagguddewo
RR kitegeeza Rajiv Ruparelia. Sudhir yalagidde abazimbye ekizimbe kino nti, wadde kumpi baakiggyeeko engalo naye ayagala bongereko erinnya lya mutabani we.
Ettaka awaazimbiddwa ekizimbe kino liri wakati wa yiika 18 -20 nga kino ky’ekizimbe ekisoose okuzimbibwako mu kibangirizi kye yatuuma Pearl Business Park Project ekifo ekigenda okukyusa endabiika ya Kampala.
Rajiv 35, yafiira mu kabenje k’emmotoka ye gye yali avuga akaaliwo nga May, 3, 2025 bwe yali avuga mmotoka ye Nissan GT-R (UAT 658H) eyatomera ebisementi bye baali balese mu kkubo ly’ettaawo ly’oku nkulungo y’oluguudo lwa Entebbe Express way.
Busaabala Flyover ng’ava e Kajjansi adda e Munyonyo ku wooteeri ya kitaawe eya Speke Resort Munyonyo gye yali agenda okusula enkeera abeere omu ku mperekeze ku mukolo gw’embaga ya mukwano gwe.