Sudhir akoze emikolo ku nnyanja okusiibula Rajiv

May 15, 2025

NNAGGAGGA Sudhir Ruparelia ne ffamire ye bakoze omukolo ogusembayo okuziika Rajiv Ruparelia 35, bwe baayiye evvu lye mu nnyanja Nnalubaale wakati.

NewVision Reporter
@NewVision

NNAGGAGGA Sudhir Ruparelia ne ffamire ye bakoze omukolo ogusembayo okuziika Rajiv Ruparelia 35, bwe baayiye evvu lye mu nnyanja Nnalubaale wakati.
Sudhir eyabadde ne mukyala we Joystna Ruparelia, bawala baabwe okuli Meera Ruparelia ne Sheena Ruparelia, nnamwandu wa Rajiv Naiya Ruparelia ssaako ne bbebi we, Inara Ruparelia ow’emyaka 3 n’abaffamire abalala baasoose kugenda ku nkulungo
y’oluguudo lw’e Busaabala ku luguudo lwa Entebbe Expressway awaafi ira Rajiv ne  bateekawo ebimuli ssaako n’okusabirawo. Bino byabaddewo ku Mmande nga baatuuseewo ku ssaawa nga  5:00 ez’oku makya, era baamazeewo essaawa nnamba.
Olwavudde wano baagenze butereevu e Munyonyo ku wooteeri ya Speke Resort Munyonyo we baasanze amaato mukaaga ag’omulembe agaabadde gabalinze  e bagatuulira ne boolekera mu makkati g’ennyanja Nnalubaale.
Amaato gano amalala 5 agaabadde gawerekedde ku lya Sudhir mwe yabadde ne ffamire ye gaabadde gatambula tegaleseewo kabanga kanene okuva ku lirye ne ffamire ye nga kuliko ne balubbira abakugu mu kuwuga okulaba nti omugagga n’abantu be tebafuna
buzibu bwonna.
Sudhir ku lyato yabaddeko n’abalyoyi b’emyoyo mu nzikiriza y’Aba ‘Hindu’ abawera era bwe baatuuse mu nnyanja wakati ne bakkaanya nti kye kifo ekituufu we babeera bawummuliza Rajiv, amaato ne bagaggyamu omuliro ne gatandika okuzannyira ku azzi nga Sudhir n’aba ffamire ye bwe bakola emikolo gy’okuyiwa evvu lya Rajiv mu nnyanja wakati mu kugoberera obulombolombo bw’eddiini y’eki ‘Hindu’.
Nga batandise omukolo guno, Sudhir aweebwa akabookisi omwabadde evvu lya Rajiv
n’akawunzika mu nnyanja olwo akagoye aka langi emmyuufu ne kagwa mu mazzi akateeberezebwa okuba nga mwe baabadde basibye evvu lye.
Oluvannyuma Sudhir alabibwa nga n’akabokisi akasuulayo mu nnyanja olwo n’aba ffamire okwabadde maama w’omugenzi Joystna, bannyina Meera ne Sheena ssaako abooluganda abalala ne batandika nabo okuyiwayo
ebimuli ebyabadde mu busero. Bakira bamansa ebimuli nga baliko ’essaala ze basaba era kino kyatutte akabanga akawera. Sudhir yategeezezza Bukedde nti
omukolo guno baagukoze okusiibula omwana waabwe n’ebigambo eby’ennaku nti; “Weeraba mutabani Rajiv tujja kukusubwa”.
LWAKI ABAYINDI BAYIWA EVVU
LY’ABANTU BAABWE MU NNYANJA Mu buwangwa bw’Abayindi ab’eddiini yaba ‘Hindu’ okufa tekulabibwa nga y’enkomerero, wabula nti omuntu bw’afa, omwoyo gwe gukyuka okuva mu mbeera emu okudda mu ndala. Omukolo gw’okuyiwa evvu ly’omugenzi guyitibwa “asthi Visarjan” era kikolebwa ng’akabonero akalaga obutukuvu
era ng’aba Hindu abasinga bakagoberera mu nsi yonna nga n’Abayindi b’omu Uganda obatwaliddemu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});