Sudhir abbudde mu mutabani we Rajiv ekizimbe

NAGAGGA Sudhir Ruparelia abbudde amannya ga mutabani we omugenzi Rajiv Ruparelia mu kizimbe galikwoleeka eky’e myaliro 19, kye yazimbye ku luguudo lwa Yusuf Lule road.

Ekizimbe Sudhir ky'abbuddemu Rajiv
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

NAGAGGA Sudhir Ruparelia abbudde amannya ga mutabani we omugenzi Rajiv Ruparelia mu kizimbe galikwoleeka eky’e myaliro 19, kye yazimbye ku luguudo lwa Yusuf Lule road.

Ekizimbe kino okusoooka Sudhir yabadde akitumye “Pearl Tower One” kyokka eggulo ku Lwokubiri bweyabadde ekiggulawo n'asalawo okukibbula mu Rajiv olw’amannyi n’ebirowoozo bye yateeka mu kuzimba ekizimbe kino ku ttaka lye yagula awaali ekitebe kya ba mbega ba CIM e Mulago , nasalawo akibulemu amanya ge, era  n’akituuma “RR Pearl Tower One”. RR kitegezza Rajiv Ruparelia.

Sudhir yalagidde abazimbye ekizimbe kino nti wadde kumpi bakiggyeko engalo naye ayagala bongereeko erinnya lya mutabani we naye gy’ali akimanye nti bazadde basiima emirimu n’omukwano gwe yalina gye baal

Ekizimbe Sudgir kyabbuddemu Rajiv Ruparelia

Ekizimbe Sudgir kyabbuddemu Rajiv Ruparelia

Ettaka awazimbiddwa ekizimbe kino liri wakati wa yiika 18 -20 nga kino kye kizimbe ekisoose okuzimbibwa kwo  mu kibangirizi kye yatuuma “Pearl Business Park Project” ekifo ekigenda okukyusa endabiika y’a Kampala.

Rajiv yafiira  ku myaka 35, gyokka mu kabenje  k’e mmotoka ye , gye yali avuga  ddeka busa  akaliwo nga May, 3, 2025. Mu mmotoka No. Nissan GT-R (UAT 658H) eyatomera ebisementi bye baali baleese mu kuubo ly’e taawo ly’oku nkulungo y’oluguudo lw’e Busaabala Flyover ng’ava e Kajjansi adda e Munyonyo ku  woteeri ya kitaawe eya “Speke Resort Munyonyo” gye yali agenda okusula enkeera abeere omu ku  mperekeze ku mukolo gwe mbaga ya mukwano gwe.

  Rajiv yali mpagi luwagga mu kuteekeratekeera n’okuleeta amagezi mu kutandiikawo  buzinensi za kitaawe ezikyusiza endabika y’e kibuga Kampala omuli  okuzimba ebizimbe n’amayumba agasulwamu, woteeri, amassomero, amalwaliro ne kalonda omulala.

Sudhir bweyabadde aggulawo ekizimbe kino yazze ne ffamire ye okwabadde  mulekwa wa Rajiv ebbujje eriyitiibwa “Inara Ruparelia Inara, mukyala we Jyotsna Ruparelia, muwala we Sheena Ruparelia n’abaana ba Sheena.

Maama  w’omugenzi Rajiv ayitiibwa Jyotsna Ruparelia yasoose kukkuleeza misubaawa nga nga ajjukira  omwoyo gwa mutabani we Rajiv n’ebirungi bye yabakoleera nga  abazadde ne ffamire