Batongozza ekifaananyi kya Museveni ekya kampeyini

EKIBIINA kya NRM kitongozza ekifaananyi ekipya kyagenda okukozesa ku bipande mu kunoonya akalulu ka 2026-2031.Batongozza n’omulamwa ekibiina gwe kigenda okukozesa okwetooloola eggwanga nga banoonya akalulu.

Hajjati Hadijah Namyalo ng’azina ne Hajji Moses Kigongo oluvannyuma lw’okutongoza ekifaananyi kya Museveni eky’okunoonya akalulu ka 2026
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKIBIINA kya NRM kitongozza ekifaananyi ekipya kyagenda okukozesa ku bipande mu kunoonya akalulu ka 2026-2031.
Batongozza n’omulamwa ekibiina gwe kigenda okukozesa okwetooloola eggwanga nga banoonya akalulu.
Omulamwa omupya guvuga nti “Tunyweza ebituukiddwaako tunyweza ebikoleddwa ate nga bwe tuluubirira okwambuka mu nsi eziri mu luse lw’amawanga agali yaddeyaddeko.”
Omukolo ogw’okutongoza ekifaananyi kya Gen. Museveni gwabadde ku kitebe ky’ekibiina ekikulu e Kyadondo mu Kampala nga gwakoleddwa omumyuka asooka owa ssentebe w’ekibiina kya NRM, Alhaji Moses Kigongo, omumyuka owookubiri omukyala Rebecca Kadaga, bammemba b’olukiiko olw’oku ntikko olufuzi  olw’ekibiina (CEC),bassentebe ba NRM bonna mu ggwanga, ssaabawandiisi w’ekibiina n’omumyuka we ssaako n’abaagaliza NRM ebirungi.

Alhaji Moses Kigongo yayozaayozezza bannakibiina olw’okutuuka ku lunaku luno n’abajjukiza nti omulamwa omukulu wa kuwenjeza Pulezidenti Museveni akalulu okulaba nga addamu okwenywereza ku ntebe emyaka 5 emirala egijja. Yabakuutidde okusonyiwagana bafube okulaba nga  bakolera wamu n’okukuuma empisa era n’abakalaatira nti bateekeddwa okukozesa olulimi olulungi mu kupepereza abatali ba NRM okugyeyungako.

Ssaabawandiisi  w’ekibiina, Richard Todwong yagambye nti NRM etuukirizza ebisuubizo byayo by’ezze nga esuubiza abantu okuviira ddala ku butebenkevu ne yeebaziza Katonda okunywereza NRM mu buyinza.
Omumyuka wa ssaabawandiisi Rose Namayanja yannyonnyodde nti omulamwa gwe bakozesezza ku mulundi guno bagusimbulidde ddala ku birungi NRM by’ekoze momuli omusinde ogwa waggulu eggwanga kwe likulira nga kati baagala okunyweza ebyobulimi, obutebenkevu, ebyenjigiriza, ebyobulamu n’ebirala bingi ebituukiddwaako mu bbanga NRM ly’emaze mu buyinza.

Yagambye nti mumativu nti ku mulundi guno Pulezidenti Museveni akalulu waakukawangulira waggulu ddala era bwatyo yakubidde bannakibiina omulanga buli omu okuwenjeza pulezidenti obuwanguzi