Bobi Wine agugumbudde ababaka ba NUP
Nov 27, 2024
BOBI Wine asisinkanye ababaka ba NUP n’abagugumbula olw’okusuulirira emirimu gy’ekibiina ne badda ku byabwe wadde nga bakimanyi bulungi nti kwe baayitira okugwa mu bifo bye balimu.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
BOBI Wine asisinkanye ababaka ba NUP n’abagugumbula olw’okusuulirira emirimu gy’ekibiina ne badda ku byabwe wadde nga bakimanyi bulungi nti kwe baayitira okugwa mu bifo bye balimu.
Mu nsisinkano eno eyabadde ku kitebe kya NUP e Makerere- Kavule, Kyagulanyi eyabadde omunyiivu yalaze obutali bumativu olw’engeri ababaka gye bamulekeredde mu kutambula kw’abaddeko mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Ensonda mu lukiiko zaategeezezza nti Kyagulanyi yeewuunyizza engeri gye yatuuka okugenda e Kisoro okunoonyeza Sultan Salim akalulu, eyali abakwatidde kaadi ku kifo ky’omubaka omukazi ng’ali ne Joseph Ssewungu (Kalungu West) yekka.
Bobi Wine yeewuunyizza okuba nga ne ku lunaku lw’okulonda tewali mubaka n’omu yali Kisoro n’agamba nti kino kyabakosa nnyo mu kukakuuma ne batuuka okukwata ba agenti baabwe nga abeebyokwerinda tebalina gwe batiisa maaso.
NUP erina ababaka 57, kw’ogatta Patrick Nsanja (Ntenjeru South) ne Joan Namutaawe (mukazi/ Masaka) abaalondebwa nga tebalina bibiina naye nga balina naye enkolagana.
Bwe yali e Kamuli, waaliyo akulira oludda oluvuganya, Joel Ssenyonyi ne Manjeri Kyebakutika (Mukazi/Jinja) bokka. Beegattibwako ababaka ba FDC abe Jinja okuli; Timothy Batuwa (Jinja South Division West) ne Aga Isabirye (Jinja North Division) be yali nabo.
Ate lwe yagenda mu disitulikiti ye Abim kyasukka kuba tewali mubaka n’omu yamuwerekera.
Yali n’abakulembeze abalala naddala abeegwanyiza ebifo by’obukulembeze.
“Kye mulina okumanya waliwo mikwano gyaffe bangi abali mu makomera nga n’abalala baafiirwa obulamu osobole okubeera omubaka. Mundekerera naye mbalindiridde,” omubaka omu bwe yategeezezza ebyayogeddwa Kyagulanyi.
Yayogedde ne ku ky’abawagizi ba NUP 19 abaaweereddwa Pulezidenti Museveni ekisonyiwo ne baggyibwako emisango egibadde gibavunaanibwa n’agamba nti kano kabonero akalaga nti gwe balwanyisa mutiitiizi nnyo. Kyokka ababaka abamu beetondedde Bobi Wine ne bamutegeeza nti obutabeera naye baakikola lwa
kiteeso ky’okuggyawo ekitongole ky’emmwaanyi ekya UCDA ekyali mu Palamenti. Olw’okuba nga abasinga bava mu Buganda batya nti bwe bataabe mu Palamenti kyali kisobola okutaputibwa obubi abalonzi.
E Buikwe waaliwo Muwada Nkunyingi (Kyadondo East), Luttamaguzi Ssemakula (Nakaseke South), Derrick Nyeko (Makindye East), Betty Nambooze (Mukono
Munisipaali), Stephen Sserubula (Lugazi Munisipaali), Gorret Namugga (Mawogola South), Susan Mugabi (Mukazi/Buvuma), Manjeri Kyebakutika (mukazi/
Jinja City). N’omubaka w’ekitundu yennyini Jimmy Lwanga (Njeru Munisipaali) teyaliiwo.
Lwanga yategeezezza Bukedde nti yabadde tayinza kubeerayo kwaniriza Bobi Wine kuba ye yasala dda eddiiro ne yeegatta ku kisinde kya PLU ekikulemberwa . Muhoozi Kainerugaba era gw’asuubira okuwagira ku bwa Pulezidenti.
Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa twitter n’ategeeza nti mu nsisinkano gye yabaddemu n’ababaka yatenderezza ababaka abakyayimiridde n’ensonga z’abantu.
“Endagabutonde yaffe egamba tuliwo ku lwa maanyi ga bantu, era kirina okulabikira mu buli kye tukola ng’abakulembeze.
Tuteesezza ne ku bikolwa by’okutulugunya abantu baffe akatali kabonero kalaga maanyi okuggyako obutitiizi bw’abatufuga. Kyokka byonna bijja kuggwa nga tuli bawanguzi”
Bobi Wine bwe yagambye. Olukiiko luno olwabadde olw’ebbugumu lwetabyemu ababaka abasinga okuggyako abatono abataabaddewo ng’atebaawerezza nsonga kwabaddeko; Bashir Kazibwe (Kawempe South), Abed Bwanika (Kimaanya-Kabonera),
Mathias Mpuuga (Nyendo-Mukungwe), Paul Nsubuga (Busiro North), Twaha Kagabo (Bukoto Central), Jimmy Lwanga (Njeru Munisipaali).
Waliwo abaaweerezza okwetonda olw’okuba baasangiddwa n’ensonga ezibakutte okuli; Francis Zaake (Mityana Munisipaali), Nsubuga Balimwezo (Nakawa East), Godfrey Saazi (Gomba East) n’abalala.
Omuyimbi Manisul Ssemanda (King Saha) ye yasoose okutabukira ababaka ku mukolo
gw’okusabira abantu abafiira mu kwekalakaasa okwaliwo mu November wa 2020 oluvannyuma lw’okukwata Bobi Wine e Luuka. “Bachali mmwe bulijjo mbanoonya era mundeke mbagambeko.
Akalulu kano akajja kwe mugenda okutegeerera nti bantu mmwe twanyiiga dda. Olwokuba ewammwe waaliyo fiizi ne musoma mulowooza muli ba kitalo.
Tugenda kuleeta abaana nga tebambalanga ku ssuuti babatobe” King Saha bwe yayatulidde ababaka. Amyuka omwogezi wa NUP
No Comment