Amawulire

Ab'ekkanisa ya Kyambazi Glorious Church bawagidde kampeyini ya Bukedde eyagabula sekukkulu

EKKANISA y'omusumba Doreen Nansasi Ssemabira eya Kyambazi Glorious yeegasse ku kkampuni ya Vision Group okuyisa abagoberezi baayo  mu nnaku za Ssekulu nga basanyuffu

Aba Glorious Church nga bafuna amawulire
By: Kigongo Moses, Journalists @New Vision

EKKANISA y'omusumba Doreen Nansasi Ssemabira eya Kyambazi Glorious yeegasse ku kkampuni ya Vision Group okuyisa abagoberezi baayo  mu nnaku za Ssekulu nga basanyuffu.

Ssemabira yagulidde abagoberezi be empapula z'amawulire ga Bukedde ga 500,000 okubasobozesa okujjuza akakonge ka Gabula Ssekukulu Sadida ,abantu baabulijjo mwe bagenda okuwangulira ebirabo ebyenjawulo omuli enkoko za Uganchick ensava, pikipiki za Tuku tuku ezateekeddwa aba Zongshen n'okusulako mu wooterri ya Goverrnors esangibwa e Mukono nga buli kimu kisasuliddwa  okumala ekiro kimu.

Kennedy Mwota owa Vision Group ng'agabira aba Church amawulire

Kennedy Mwota owa Vision Group ng'agabira aba Church amawulire

"Tweegasse ku Vision Group olw'ensonga nti ebigenderedwa byayo omuli, eby'okukyusa embeera z'abantu nga bayiita mu kubawa amawulire agabazimba,essanyu n'okubasomesa naffe bye tukola ng'ekkanisa nga tuyita mu kutegeka enkungaana (Crusades) nga olw'abadddewo omwaka oguwedde(2023) ne mu October w'omwaka gunor(2024) wamu n'olugenda okubeerawo kunkomerero y'omwaka guno nga tubabuulira enjiri ya Mukama okukyuusa obulamu bwabwe mu bitundu ebyenjawulo gye bawangaalira," bwatyo Ssemabira bwe yategeezeza ng'ali n'abagoberezi be bakira abajjuza obukonde obw'okumukumu n'ekigendererwda ky'okuwangula ebirabo ebiri mu kazannyo kano.

Yakkatiriza nti okufafanako ne Vision Group,ekkanisa yaabwe nayo yayise mu loukungaana lw'omwaka oguwedde,okuwa abantu baabulijjo amawulire amalungi ag'obulokozi,okubasomesa engeri gye bateekeddwa okweeyisaamu mu bulamu bw'ensi eno wamu n'okubasanyusa nga bayita mu nnyimba ezitendeteereza n'okuzinza Yesu Kulisito. Era ne yeebaza abatwaala olupapula lwa Bukedde olw'okutuusanga ku basomi baalwo amawulire agabalyoowa emyooyo mu mikko gyaalwo egy'eddiimu buli wikendi.

Abagoberezi abaasomye mu 100 abaakulembeddwa paasita Micheal Ssemabira (bba w'omusumba Nansasi) obwedda bajjuza obukonge obwenjawulo wakati mu kusiima Bukedde olwa ye baayisa okubawa omukisa okweetaba mu kazannyo k'omwaka guno bawangule ku birabo ebikalimu.

Okweetaba mu kazannyo kano,oteekeddwa okuggula kkopi ya Bukedde noogenda ku mukko Ogwookubiri awali akakonge ka Gabula Ssekukulu Sadida ,olwo nojjuzaamu amannyago,enamba y'essimu negyoobeera.

Bwoomala okukola kino akakonge kano kayuzeemu okawe atunda amawulire ga Bukedde mu kitundu kyo akakuleetere ku offiisi za kkampuni eno efulumya ne Bukedde olupapula olinde omukisa gw'okuwangula ebirabo ng'akalulu kakwaatiddwa nga 23 December omwaka guno.