Gwe baakwatidde mu musiri gwa muliraanwa we ng'awulula emmwanyi bamutemyeko omukono

Dec 02, 2024

OMUTUUZE bamutemyeko omukono bw’asangiddwa lubona mu musiri gwa muliraanwa e Bukomansimbi ng’awulula emmwaanyi ze.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUTUUZE bamutemyeko omukono bw’asangiddwa lubona mu musiri gwa muliraanwa e Bukomansimbi ng’awulula emmwaanyi ze.

David Ssembalirwa 31, ow’oku kyalo Makukulu mu ggombolola y’e Kitanda ye yasimattuse okuttibwa nnannyini mmwaanyi, Martin Lubega.

Kigambibwa nti Ssembalirwa ne munne atannategeerekeka baazinzeeko omusiri gwa Lubega ku ssaawa 3 ez’ekiro ne batandika okuziwulula ng’abawendule n’ekigendererwa eky’okwefunira ku nsimbi ez’amangu.

Ssembalirwa Gwe Baatemyeko Omukono

Ssembalirwa Gwe Baatemyeko Omukono

Mu budde bwe bumu, ne nnannyini musiri Lubega, yabaddemu ng’alawuna n’agwisa bwenyi ne ba Ssembalirwa.

Lubega yakubye enduulu, munywanyi wa Ssembalirwa emisinde ne gimweyimirira. Lubega ekiruyi yakimalidde ku Ssembalirwa okukkakkana ng’amutemyeko omukono ogwa kkono awo nga mi kiseke.

Ssembalirwa yadduse kiwalazima n’agenda mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi aboobuyinza gye baamuggye n’atwalibwa ku kitebe kya poliisi e Bukomansimbi gye twamusanze.

Mu ngeri yeemu, poliisi era yaggalidde nnannyini musiri Lubega ng’emuvunaana okutwalira amateeka mu ngalo.

Mu kwogerako ne Lubega, yategeezezza ng’ababbi bwe bamufuukidde ekizibu nga ku luno okwevaamu okutemako Ssembalirwa omukono, naye yabadde yeetaasa kuba yabadde (Ssembalirwa) ayagala nti kumutuusaako bulabe.

Ssembalirwa yakkirizza nti ddala yasangiddwa mu musiri gwa Lubega. Kyokka naye yasabye ayambibwe afune obwenkanya olw’okutemwako omukono. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Masaka, Twaha Kasirye yakakasizza ebyabaddewo era nti fayiro zagguddwaawo ku Ssembalirwa ne Lubega.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});