Abantu b'e Gomba batenderezza Majembere olw'okulwanirira ebibanja byabwe
Dec 03, 2024
ABATUUZE b’e Gomba beeyiye ku kkooti okuwolereza amyuka RDC we Rukiga ku misango gy’okubba ente n’okusalimbira ku ttaka.

NewVision Reporter
@NewVision
ABATUUZE b’e Gomba beeyiye ku kkooti okuwolereza amyuka RDC we Rukiga ku misango gy’okubba ente n’okusalimbira ku ttaka.
Ivan Kamuntu Majambere 41 nga ye mu myuka wa RDC Rukiga abadde akomyewo mu kkooti e Kanoni Gomba okuwulira omusango gwe ,abatuuze ne bajja bawe obujulizi okumutaasa nga bagamba yali alwanirira bo olw'ebibanja byabwe byebaagala okubabbako.
Majambere yayimbulwa ku kakalu ka kkooti era akomewo leero wabula omuwaabi wa gavumenti Arthur Masaba ategezezza kkooti nti okunonyereza ku kyagenda mu maaso n'asaba baweebwe obudde.
Abatuuze babaddewo mu bungi nga bagamba bazze kuwolereza Majambere bagambye nti Majambere yali alwanirira bo nga n'ente zebamulumiriza bonna baaliwo nga bannanyini zo bazitwala.
Majembere nga bamutonera ebintu omubadde ne ssente
Omulamuzi Pauline Sabakaki ayongezaayo omusango okutuusa January 14,2025.
Oludda oluwaabi lugamba nti August 2023 Majambere n’abalala baasalako ffaamu esangibwa ku yiika 300 ku Block 75 ku Plot 2 mu disitukiti ye Gomba erya Frank Rushanganwa. Byaliwo mu 2023 ku kyalo Kammengo e Gomba yasalimbira ku ttaka eryo.
Ono avunaanibwa okubba ente 157 ezibalirwamu obukadde 381 eza Rushanganwa .Era Majembera avunaanibwa okwekobaana nabalala okubba ettaka lya Rushanganwa.
Wabula abatuuze agamba nti Rushanganwa yafuna ekyapa mu bukyamu era nekisazibwamu era baali ku kyalo abantu beebatamanya nebayiwa eggana ly’ente neritandika okulya ebirime byabwe.
Bagamba nti kubanga Majambere naye ekibanja ku ttaka eryo, naye yajja okwerwanako kyokka abamukwata tebawuliriza nsonga zaaliwo mu mu bufuufu bwazo.
Kkooti eyisizza ekibaluwa bakuntumye eri omuwawabirwa omulala Amos Mwesigye.
No Comment