Munnalotale District Governor (DG) Anne Nkutu atenderezza lotale kkiraabu y’e Kanyanya olw’omulimu ettendo gwe baakoze ku ssomero lya Kanyanya CoU Primary School.
Essomero lino lirudde nga litawaanyizibwa ekizibu ky’ebbula ly’amazzi. Bino olwabagwa mu matu, bannalotale kwe kusitukiramu ne babadduukirira ne ttanka ya liita 5,000. Kuno era baagattako ebitabo, ekkalaamu n’ebyetaago by’abayizi ebirala.
Ku mukolo gwe gumu, Nkutu yayanirizza bammemba mukaaga ebeegasse ku lotale kkiraabu y’e Kanyanya.
Anne Nkutu owa Rotary ng'ayogera
Bano kuliko; Elly Barrows Bugonja, Alan Matovu, Doreen Nabukenya, Oscar Mabirizi, Gladys Nakiboneka, Samuel Semaato ne Benon Tumukunde.
Kkiraabu eno yaweebwa ‘charter’ emyezi mukaaga egiyise era Nkutu yasiimye Rosetti Kavuma, dayirekita waayo olw’okukola obutaweera ne basobola okuyingiza bammemba abapya mu bbanga ettono.
Bonna awamu baaweze 49. Era yabeebazizza olw’obumu n’agamba nti bammemba 60% bawaayo eri Rotary Foundation.
Luno lwabadde lukyala lwa 92 olwa ggavana. Nkutu yategeezezza nti mu myezi etaano egiyise, disitulikiti ya 9213 (District 9213) esobodde okuyingiza bammemba abapya abawera 554.
Munnamawulire wa Rotary Club ye Kanyanya Geoffry Kulubya ng'ali ne Anne Nkutu
Oluvannyuma yasabye bannalotale okufaayo ennyo okukuuma bammemba abapya kubanga kiyamba kkiraabu okukula.
Yagambye nti abantu beegatta ku lotale olw’ensonga ez’enjawulo okuli; okufuna emikwano, okutambulako n’okusenga mu mawanga ag’enjawulo. Omuntu yenna akkirizibwa okusenga mu ggwanga lyonna ly’ayagala kasita akikola mu mateeka.
Oluvannyuma Rotarian Geoffrey Kulubya ng’ono yakulirako olupapula lwa Bukedde yakulembeddemu okusonda ssente era ezisoba mu kakadde kalamba zaasondeddwa.